Bya Lilian Nalubega Mengo ezzeemu okuyungula abakungu baayo okuddayo ku butaka bw’ekika ky’e Mpologoma mu kaweefube gw’eriko okutaawulula enkaayana eziriwo ku ttaka ly’obutaka bw’ekika kino ne munnamagye eyawummula Gen. Elly Kayanja. Ttiimu yakulembeddwa Minisita w’eby’obuwangwa, embiri, amasiro n’eby’okwerinda e Mmengo, Anthony Wamala, Ssaabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika, minisita w’olukiiko, kabineeti, abagenyi ne w’ofiisi ya Katikkiro […]