Akakiiko K’eddembe Ly’obuntu Kasitukiddemu Olw’amakampuni G’Abachina Agayasa Amayinja Agakosa Abantu

Abakakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso kasitukiddemu oluvannyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu gye kali nga beemulugunya ku makampuni agayasa amayinja ge bagamba nti gabakosezza mu ngeri ezitali zimu omuli n’okukosa obulamu bwabwe kyokka nga ne bwe beekubira enduulu mu be kikwatako teri kikolebwawo. Akakiiko kano okutuuka okuvaayo kiddiridde abatuuze ku byalo bisatu okuli Busawuli, Buteregga […]

Abatuuze Beekokkodde Abachina Abayasa Amayinja-Gajjamu Abakyala Embuto

Bya Tony Evans Ngabo Abatuuze okuva ku byalo bisatu okuli Bumera, Buteregga, Busawuli ne Kkongojje, mu gombolola ye Mende mu disitulikiti y’e Wakiso  basobeddwa ekka  ne mu kibira  olwa kkampuni y’Abachina eyasa  amayinja eya  King Long gye bagamba nti ebamazeeko emirembe n’okukaluubiriza obulamu mu byalo kwe bawangaalira. Bano beemulugunya nti mu kwasa amayinja gano olw’okuba […]

Obuteesiga Gavumenti Buleetedde Pulogulaamu Y’okufukirira ebirime Okuzingama-Dr. Matia Bwanika

Bya Tony Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Bwanika alaze okunyolwa ng’agamba nti bangi ku Bannayuganda tebaakyesiga pulogulaamu za gavumenti ekiviiriddeko ezimu ku pulogulaamu okukonziba ng’abantu balinga abaazizira. Ssentebe Bwanika anokoddeyo enteekateeka ya gavumenti mw’eyita okuwa abantu ebyuma ebyeyambisibwa mu kufukirira ebirime emaanyiddwaa nga ‘micro irrigation scheme’ ng’eno mu kiseera kino tennatambula […]

Okwewala Cervical Cancer, Omuwala Omuto Eby’okwegatta Biveeko!

Bya Tonny Evans Ngabo Abawala abaakyali abato balabuddwa okwewala okutandika ebikolwa eby’okwegatta nga tebanneetuuka. Abakugu mu nsonga z’eby’obulamu bagamba nti kino kye kimu ku bivaako ekirwadde kya kkansa wa nnabaana (cervical cancer) akyasinze okutta abakyala mu Uganda. Dr. Frank Kalyango nga y’akulira eddwaliro lya Bulondo Health Centre III erisangibwa mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti […]

You cannot copy content of this page