Kabaka Talabiseeko mu Lubiri e Mengo mu Nkuuka Tobongoota

Abantu ba Kabaka okuva mu bitundu bya Buganda ne Uganda eby’enjawulo beeyiye mu bungi mu Lubiri e Mengo mu kivvulu kya Leediyo y’Obwakabaka eya CBS ekya buli mwaka eky’Enkuuka Tobongoota. Bano bakulembeddwa abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuva mu Bwakabaka bwa Buganda n’abalala okuva mu gavumenti eya wakati. Wadde ng’ebadde nnono ya buli mwaka Kabaka okwetaba […]

Kabaka Alambudde mu Lubiri e Mengo Ewagenda Okubeera Enkuuka

Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambudde ekifo ewategekeddwa Enkuuka ya CBS mu Lubiri e Mengo okulaba butya abategesi bwe bateekeddeteekedde abantu be. Kitegeerekese nga guno gubadde mulundi  gwakubiri mu ssaabbiiti eno ng’Empologoma yeetegereza ekifo kino nga yasooka kulabikako ku Lwakuna. Enkuuka yaakubeera mu Lubiri e Mengo enkya nga December 31, 2023. […]

You cannot copy content of this page