Ssekiboobo Atuuzizza Omwami wa Kabaka Ow’omuluka gw’e Mpoma

Omumyuka asooka owa Ssekiboobo David Kato Matovu atuuzizza n’okulayiza Omwami wa Kabaka ow’omuluka gw’e Mpoma II ogusangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono. Sylvia Kyowa Kyobe y’atuuziddwa wakati mu mukolo ogujjudde essanyu, emizira, engoma n’amazina nga bino bisaanikidde ebyalo okuli Mpoma n’e Kisowera. Omumyuka wa Ssekiboobo nga ye mwami wa Kabaka atwala essaza […]

Ab’abaana abakulu mu mizigo eby’okwegatta mu lumummula mu byesonyiwe-poliisi

Bya Tonny Evans Ngabo Ng’abaana kye baggye bawummule okuva ku masomero ne badda ewaka mu luwummula luno olunene, poliisi evuddeyo n’erabula abazadde abalina abaana abakulu naye nga bali mu mizigo okugira nga bavudde ku by’okwegatta mu kifo ky’okubakabawaza. Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo  ku Kasanje Police Station Ambrose Mugyenyi ategeezezza nti mu kiseera kino, […]

King Saha akaabidde mu kivvulu e Mukono lwa byuma kuvumbeera

Wadde nga yafunye abantu mu kivvulu kye eky’Ebiseera ebyo ku Colline hotel e Mukono, King Saha yawaaliriziddwa okukaaba amaziga agatali ga ssanyu wabula ag’ennaku olw’ebyuma okuvumbeera. Ekivvulu kino kyatandise ku ssaawa nga ziyise mu mukaaga ogw’ekiro ng’abategesi batetenkanya kino na kiri nga bigaanye. Wabula bano baafunye akadde akalungi olw’abadigize okubeera abakkakkamu ne babaleka ne batwala […]

Bp. Kakooza Agguddewo Ennyumba ya ba Ffaaza Amatiribona e Mpoma

Omusumba wa Klezia atwala essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza agguddewo ennyumba amatiribona eya ba ffaaza ezimbiddwa Abakristu ku kigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa. Omusumba Kakooza asiimye Abakristu, ba ffaaza abakulembeddwa bwanamukulu, Fr. Denis Kibirige n’omuyambiwe, Fr. Henry Wamala ssaako ba Ssaabakristu ab’enjawulo abazze babakolamu omulimu gw’okusonda ensimbi ezizimbye ennyumba eno okumalirira ddala ebbanga lya […]

Kitalo! Akabenje Katuze Abasoba mu 10 e Namboole-Bangi Bataawa

Bya Tony Evans Ngabo Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze n’abasaabaze abakozesa oluguudo lwa Kampala-Jinja akabenje bwe kagudde e Namboole ne katuga abantu abasoba mu 10 ate abali eyo mu 50 ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bataawa. Akabenje kano akasannyalazza n’eby’entabula ku luguudo lwa Northern Bypass oludda ku ttaawo ly’e Namboole oluvannyuma lwa lukululana nnamba UBB 520H […]

Bbomu mu Kampala n’e Wakiso: Ab’amabaala bateereddwako obukwakkulizo

Bya Tonny Evans Ngabo Ng’embeera eyongera okubeera ey’obunkenke mu kibuga Kampala n’ebitundu ebimu mu disitulikiti y’e Wakiso olw’eby’okwerinda ebitabuse mu kiseeraa ng’eggwanga lyolekedde ennaku enkulu, amabaala n’ebifo ebisaanyukirwamu biteereddwako obukwakkulizo obukakali. Embeera eno eddiridde bbomu ebbiri ezaatulikidde mu bifo eby’enjawulo e Kikubamutwe mu Kabalagala n’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana ku Lwomukaaga. Omubaka wa Pulezidenti […]

Okwewala Cervical Cancer, Omuwala Omuto Eby’okwegatta Biveeko!

Bya Tonny Evans Ngabo Abawala abaakyali abato balabuddwa okwewala okutandika ebikolwa eby’okwegatta nga tebanneetuuka. Abakugu mu nsonga z’eby’obulamu bagamba nti kino kye kimu ku bivaako ekirwadde kya kkansa wa nnabaana (cervical cancer) akyasinze okutta abakyala mu Uganda. Dr. Frank Kalyango nga y’akulira eddwaliro lya Bulondo Health Centre III erisangibwa mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti […]

Okunaawuza entalo mu bakulembeze b’Africa kitattanye enkulaakulana

Bya Tony Evans Ngabo Omukungu okuva mu kitongole ki Advocates Coalition for Development and Environment (ACODE) ekivunanyizibwa ku kulondoola wamu n’okutumbula enkola n’enfuga ennungi  mu bakozi ba gavumenti wamu n’ebitongole eby’enjawulo  Prof. Auther Bainomugisha, asabye abakulembeze ku ssemazinga wa Africa okuva mu kunawuuzanga entalo ezitadde ensi zaabwe mu matigga. Bainomugisha ng’era musomesa ku Kyambogo University […]

Gen. Katumba Akyatenda Katonda Okumusimattusa Amasasi

Gen. Edward Katumba Wamala ne gye buli eno bw’ajjukira engeri gye yasimattuka amasasi ne kiba nga we butuukidde olwaleero ng’enkuyege zikyamukubira enduulu, agamba nti talema kufukamira n’asabako n’okwebaza Katonda kuba tebwali busobozi bwe ng’omuntu wabula ekisa ky’oyo eyamutonda. “Bannange mmwe okuba nga mundabako olwaleero ne njogera gye muli, tebwali busobozi bwange kuba mbu ndi munnamagye […]

Ssaabasumba Ayanukudde President Museveni-Abazadde Obutabaako Kye Basasula ku Masomero Kikyamu!

Bya Tony Evans Ngabo Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere ayanukudde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yavuddeyo n’agamba nti eggwanga bwe linaaba lyakulinnya ku nfeete ekirwadde kya Siriimu (HIV/AIDS) abazadde tebasaanidde kusasula bisale mu masomero. Museveni ng’asinziira mu disitulikiti y’e Rakai eggwanga gye lyakulizza olunaku lwa Siriimu olw’ensi yonna ku Lwokutaano […]

You cannot copy content of this page