Bp. Kagodo Atongozza Okuzimba Lutikko y’e Mukono Empya

Omulabirizi w’Obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo atongozza kaweefube w’okuzimba Lutikko ya Mukono ey’Abatukuvu Firipo ne Ndereya empya. Kagodo asinzidde mu kusaba okutegekeddwa mu Lutikko enkadde mu ttuntu lya leero ku Lwokusatu n’ategeeza nti oluvannyuma lwa Lutikko eno eyazimbibwa emyaka egikunukkiriza mu 90 mu mwaka gwa 1936 okuba ng’efunze tekyamala, obulabirizi bwasazeewo okuzimba empya enaaba […]

Kyagulanyi Alambudde ku Mubaka Ssegirinya-Embeera ye Ewa Essuubi

Ssenkaggale w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu a.k.a Bobi Wine alambudde ku Mubaka wa palamenti owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya n’asanga ng’embeera y’obulamu bwe ewa ku ssuubi. Ssegirinya aludde ng’ebirwadde bimugoya n’abamu ku booluganda lwe, mikwano gye egy’okulusegere n’abawaguzibe ne batuuka okuggwamu essuubi. Wabula Kyagulanyi w’amutuukiddeko, ng’embeera ye ezzaamu amaanyi. Ssegirinya yasiibulwa […]

Awangudde empaka z’Oluganda yeewangulidde akamyu ku ssomero

Ng’Abaganda bwe baagera nti “Omumpi w’akoma w’akwata”, oluvannyuma lw’okutuuyana n’ebibuuzo, essomero omuzi anywedde mu banne akendo limuwadde kamyu ne bamukuutira atandike okulunda naddala mu kiseera kino nga bagenda mu luwummula oluwanvu. Abayizi babbinkanye mu mpaka z’olulimi Oluganda mwe bababuulizza ebibuuzo eby’enjawulo ebikwata ku buwangwa n’ebyafaayo bya Buganda ssaako kalonda akwata ku bukulembeze bwa era n’ebyafaayo […]

Ab’e Mpologoma Balumirizza Buganda Land Board Okulemeza Gen Kayanja ku Ttaka Ly’Ekika!

Bya Lilian Nalubega Mengo ezzeemu okuyungula abakungu baayo okuddayo ku butaka bw’ekika ky’e Mpologoma mu kaweefube gw’eriko okutaawulula enkaayana eziriwo  ku ttaka ly’obutaka bw’ekika kino ne munnamagye eyawummula Gen. Elly Kayanja. Ttiimu yakulembeddwa  Minisita w’eby’obuwangwa, embiri, amasiro n’eby’okwerinda e Mmengo, Anthony Wamala, Ssaabawolereza wa Buganda  Christopher Bwanika, minisita w’olukiiko, kabineeti, abagenyi ne w’ofiisi ya Katikkiro […]

Embeera Y’essomero lya Kasanje C/U Yeeraliikiriza

Bya Tony Evans Ngabo Embeera  ku ssomero lya Kasanje Church of Uganda Primary School mu Kasanje ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Waakiso yeeralikirizza abatwala eby’enjiriza wamu n’abakulembeze ba disitulikiti eno. Bano bagamba nti ebizimbe ebisinga abayizi mwe basomera bikutte mu mbinabina, ebimu bikadde nnyo ng’ate bitonya ekitagambika nga mu kiseera kino abamu ku bayizi basomera […]

Poliisi ne UPDF bakubye mu b’e Kasokoso ne Kiganda ttiyaggaasi

Bya Tony Evans Ngabo Abatuuze ba Kireka D, Kasokoso, Kiganda ne  Acholi Quarters ebisangibwa mu Namugongo Division  mu munisipaali y’e Kira beegugunze ne beekalakaasa ekiddiridde kukuma muliro mu makubo ne bookya ebipiira ssaako okukanyuga amayinja nga balwanagana n’abasirikale ba poliisi wamu n’amagye  ga UPDF abazze okubasengula ku ttaka poliisi ly’egamba nti lya Barracks. Bano beesudde […]

Amaka Agakuuma Abaana Abatalina Mwasirizi Gaweereddwa Nsalessale

Bya Tonny Evans Ngabo Omuwendo gw’amaka  agakuumirwamu  abaana  abatalina mwasirizi agakolera mu bumenyi  bw’amateeka mu disitulikiti ez’enjawulo geeyongedde. Abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba nti kino kivuddeko abaana bangi okutuusibwako obulabe okuli n’abakukusibwa ne batwalibwa ebweru w’eggwanga ng’abantu abeefuula ababayamba bakozesa obunafu mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo. Okwogera bino, bano baaabadde mu disitulikiti y’e […]

Tewakyali Kiyinza Kulemesa Mbaga ya Kyabazinga-Dr. Muvawala

“Tuli basanyufu nnyo olwa Bannaffe okuva mu Bwakabaka bwa Buganda wamu n’abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebirala abatuwagidde mu bungi. Embaga ya Mwenemu yaakubeera ya kitiibwa nnyo era ya byafaayo,” Katuukiro Dr. Muvawala bwe yategeezezza.     Bya Tony Evans Ngabo Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala agumizza Abasoga ng’enteekateeka zonna bwe ziwedde ez’embaga y’omwaka eya […]

Abakristu mu Ssaza ly’e Lugazi Balamaze mu Bungi e Bulimu

Buli mwaka nga November 12, lwe lunaku omu ku Bajulizi ba Uganda, Ponsiano Ngondwe lwe yattibwa ng’era Abakristu okuva mu ssaza lya Klezia ery’e Lugazi lwe balamaga ku kiggwa ky’omujulizi ono e Bulimu. Essaza ly’e Lugazi likolebwa disitulikiti nnya okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma ng’Abakristu okuva mu bitundu eby’enjawulo eby’essaza beeyiye mu bungi e […]

Aba Scout ba St. Joseph Pilot School badduukiridde ba bbebi mu Nsambya Babies Home

Bya Lilian Nalubega  Abasikawutu bennyamidde olw’abakyala abazaala abaana kyokka ne babasuula ekibaviirako bangi okufa n’abo abalondebwa ne bakuzibwa abantu abatabalinaako luganda ne bakula nga tebalina mukwano gwa bazadde buli muntu gwe yandyetaaze. Abasikawutu bano bagamba nti omuntu yenna okukula obulungi aba asaana okusooka okuyonka ebbanga lye erisooka ery’emyaka ebiri nga bwe kirambikibwa obulungi abasawo era […]

You cannot copy content of this page