Mukono General Hospital Teririna Bidduukirira Bagudde ku Bubenje

Eddwaliro lya Mukono General Hospital lyekubidde enduulu eri gavumenti n’abazirakisa okulikwasizaako okwongera okutereeza empeereza naddala bwe gutuuka ku ky’abantu abagwa ku bubanje. Akulira enzirukanya y’emirimu mu ddwaliro lino, Moses Bwogi yategeezezza nti eddwaliro mu kiseera kino teririna waadi ya bagudde ku bubenje nga beeyambisa kifo ewatuukirwa abalwadde abava ewaka ekimanyiddwa nga OPD ekikosa empeereza y’emirimu […]

DOS wa St. Balikuddembe S.S Kisoga Agattiddwa mu Bufumbo Obutukuvu

Bya Wilberforce Kawere Atwala ebisomesebwa (Director of Studies-DOS) mu ssomero lya St. Balikuddembe S.S e Kisoga, Charles Ssekato Nsubuga yeewangulidde obufumbo obutukuvu, bw’akubye embaga kabiitewe era Nnaalongowe Roseline Namutyaba. Ssekato ne Namutyaba bagattiddwa mu Klezia ya St. Balikuddembe e Kisoga mu Ntenjeru-Kisoga TC mu disitulikiti y’e Mukono ng’omuyambi w’omusumba wa Klezia atwala essaza ly’e Lugazi, […]

Bataano Ababadde Bava ku Kabaga mu Ssabo Bagudde mu Nnyanja ne Bafa

Abantu bataano ababadde basaabalira mu lyato ku nnyanja Nalubaale mu bizinga by’e Buvuma nga bava ku kabaga ak’okwekulisa okuyita mu mwaka n’okwewonga olw’omwaka omupya bagudde mu nnyanja ne bafa. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto, 14 kw’abo bannyuluddwa mu nnyanja ne baddusibwa mu ddwaliro ly’e Bugaya gye bali mu kufuna […]

Chosen Becky Akeereye Okutuuka mu Kivvulu ne Bamumma Ssente N’atabukira Abategesi

Omuyimbi Chosen Becky omwaka omupya tegumutandikidde bulungi n’akatono oluvannyuma lw’okukuba obuvvulu obungi mu kiro ky’okuyita mu mwaka n’atuuka kikeerezi mu kivvulu ekimu e Mukono n’afuna obutakkaanya n’abategesi mu by’ensasula! Becky oluvannyuma lw’okulwawo okutuuka n’asanga ng’abasinga ku bantu n’okufuluma bafulumye ku Colline Hotel, yakutte akazindaalo n’ayimba kyokka teyagenze wala n’asaba basooke bamusasule yeeyogereyo nga kino abategesi […]

Kabaka Talabiseeko mu Lubiri e Mengo mu Nkuuka Tobongoota

Abantu ba Kabaka okuva mu bitundu bya Buganda ne Uganda eby’enjawulo beeyiye mu bungi mu Lubiri e Mengo mu kivvulu kya Leediyo y’Obwakabaka eya CBS ekya buli mwaka eky’Enkuuka Tobongoota. Bano bakulembeddwa abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuva mu Bwakabaka bwa Buganda n’abalala okuva mu gavumenti eya wakati. Wadde ng’ebadde nnono ya buli mwaka Kabaka okwetaba […]

MP Betty Ethel Naluyima bamuggye ku mudaala-Ying. Lugoloobi amukubye Empeta

Bya Tonny Evans Ngabo Omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima baamuggye ku mudaala gw’abanoonya. Ono bba Ying. Tadeo Lugoloobi amukubye empeta wakati mu Lutikko e Lubaga mu kibuga kya Ssaabasajja Kabaka eky’e Kampala. Omubaka Naluyima ne bba Lugoloobi bakubye ebirayiro by’okwagalana okutuusa okufa lwe kulibaawukanya, okwagalana mu bwavu n’obugagga, mu […]

Kabaka Alambudde mu Lubiri e Mengo Ewagenda Okubeera Enkuuka

Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambudde ekifo ewategekeddwa Enkuuka ya CBS mu Lubiri e Mengo okulaba butya abategesi bwe bateekeddeteekedde abantu be. Kitegeerekese nga guno gubadde mulundi  gwakubiri mu ssaabbiiti eno ng’Empologoma yeetegereza ekifo kino nga yasooka kulabikako ku Lwakuna. Enkuuka yaakubeera mu Lubiri e Mengo enkya nga December 31, 2023. […]

Bannakibiina kya NUP Bawanze Omuliro mu Kusabira Frank Ssenteza

Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) leero basabidde omwoyo gwa Frank Ssenteza ng’ono ye yali omukuumi w’omukulembeze w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine agambibwa okutomerwa emmotoka y’amagye n’emutta mu kkampeyini z’obwa pulezidenti mu mwaka gwa 2020. Frank ssenteza yafiira Busega nga 27/12/2020 kkonvooyi ya Kyagulanyi bwe yali eva mu bitundu by’e […]

Kabaka Avumiridde Abalina Enkwe, Obuggya, N’effutwa eri Obwabaka

  Kabaka: “Tukyalina bingi bye tulina okukola bitusobozese okusiguukulula enkwe, obuggya n’effutwa ebikolebwa abalina empiiga ku Bwakabaka.” Bya Lillian Nalubega Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza abantu be obubaka obubaagaaliza Amazaalibwa ga Yezu Kristu ag’emirembe n’omwaka omuggya omulungi era ogw’eby’engera. Mu bubaka bwa Maasomoogi, alaze okunyolwa olw’abantu abalina enkwe, Effutwa n’empiiga eri Obwabaka […]

You cannot copy content of this page