Kkansala Nambooze gwe yavuma amalibu bamusondedde ssente n’agula amannyo n’acacanca

Story ya Insight Post UG Kkansala ku lukiiko lwa Mukono Central divizoni, Fred Kiyimba essanyu alina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’abatuuze okwekolamu omulimu ne bamusondera amannyo amazungu ne bamuwonya ekizibu ky’amalibu. Kiyimba amannyo gaamusondeddwa bammemba ku mukutu gwa WhatsApp ogumanyiddwa  nga ‘Mukono Municipality for All’ ng’enteekateeka zino zaakulemberwamu omumyuka wa RDC w’e Mukono, Mike […]

Disitulikiti y’e Luweero Etubidde N’ensimbi Ez’okugula Ebikozesebwa mu Kufukirira

Bya Wilberforce Kawere Abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Luweero bakyasobeddwa eka ne mu kibira olw’abalimi abakyabaziriridde ensimbi gavumenti ze yabawa eziri mu buwumbi obusoba mu bubiri okubayamba okugulamu ebyuma ebikozesebwa mu kufukirira ebirime. Okusinziira ku mumyuka w’akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Luweero, Henry Musisi, balina ensimbi eziri eyo mu buwumbi bubiri gavumenti […]

Kitalo! Ssemaka Eyawasiza Abakazi Babiri mu Nju Emu Y’ekumyeko Omuliro N’abengeya

Abatuuze ku kyalo Myanzi ekisangibwa mu disitulikiti y’e Kassanda baguddemu encukwe ssemaka eyawasiza abakazi babiri mu nnyumba emu bwe yeesuddemu jjulume ne yeekumako omuliro n’asirikka. Ssemaka ono abadde muvubuka embulakalevu ng’ategeerekeseeko limu lya Frank ng’abadde atemera mu gy’obukulu 26. NCDC Develops New ECD Curriculum Ready for Rollout Next Year Abatuuze yavudde ku butakkanya wakati we […]

Temukkiriza Baweereza mu Kkanisa Kubeera mu Mbeera Mbi-Bp. Kagodo

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo asoomoozezza Abakulisitaayo okukomya okutunula obutunuzi ng’abaweerezaa mu kkanisa bayita mu mbeera eziteeyagaza. Bp. Kagodo anokoddeyo ababuulizi abasula mu bifulukwa, ennyumba ezitonnya, abatalina mmere n’abamu ng’eby’okwambala n’okulabirira abantu ba ffamire zaabwe bibatambuza beeyogeza bokka n’agamba nti kino kikyamu nnyo naddala mu mulembe guno. Global Junior School Ushers Kids into […]

Poliisi Ekutte Bana ku By’okumenya Klezia ne Babba N’okwonoona Ebintu

Bya Tonny Evans Ngabo Abakristu mu kigo kya Our Lady of Assumption e Mwereerwe, ekisangibwa mu divizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso  baguddemu encukwe bwe bakedde ku makya ne basanga nga klezia yaabwe ababbi baagimenye ne babba ebintu eby’enjawulo n’okwonoona ebintu ebiweredde ddala.  Okusinziira ku Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. James […]

Bp. Ssebaggala Alabudde Abeekulubeesa ne Canon Kasana e Luweero

Omulabirizi akuuma entebe y’obulabirizi bw’e Luweero, Bp. James William Ssebaggala alabudde Abakulisitaayo n’abaweereza mu kkanisa abakyekulubeesa ne Canon Godfrey Kasana Ssemakula eyali alondeddwa okufuuka omulabirizi w’e Luweero n’amala n’asuulibwa. Omulabirizi okuvaayo kiddiridde Canon Kasana okugenda mu maaso n’okukola emirimu ng’omusumba mu bulabirizi bw’e Luweero ng’era ono asongebwamu ennwe ng’akuma mu Bakulisitaayo omuliro n’okubatemaatemamu. Gye buvuddeko, […]

Eyabba Ssente za SACCO Y’abasuubuzi Addiziddwa mu Kkomera e Kauga

Kkooti e Mukono egaanye okukkiriza okusaba kw’omusajja agambibwa okubba ssente za SACCO y’abasuubuzi e Mukono ezisoba mu bukadde 800. Samuel Omazare nga ye yali akulira UPENDO Market Vendors Multipurpose SACCO eyali ekakkalabiza emirimu mu katale ka Kame Valley Market e Mukono y’awerennemba n’omusango gw’okubba ssente z’abasuubuzi ze baali baterekedde omwaka mulamba n’okusoba. Omazare yasimbiddwa mu […]

Omwami W’essaza Kaggo Alabudde Abazadde Okufaayo ennyo ku Baana

Bya Tonny Evans Ngabo Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Ssalongo Matovu Ahmed Magandaazi alabudde abazadde ku nkuza y’abaana gy’agamba nti y’ensibo y’ebizubu ebifumbekedde mu ggwanga. Kaggo okwogera bino yasinzidde Kirinya mu ggombolola ya Ssaabaddu-Kira bwe yabadde akulembeddemu emikolo gy’okutuuza omwami w’omuluka gwa Ssaaabagabo-Kirinya, Ssalongo David Ssekalega Ziriddamu n’asaba abazadde okukozesa ekiseera ky’oluwummula […]

Ssaabalabirizi Kazimba Ajaguzza Emyaka 40 mu Bufumbo Obutukuvu

Bya Wilberforce Kawere Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ne mukyalawe Margret Naggayi bajaguzza emyaka 40 bwe ddu bukyanga bagattibwa mu bufumbo obutukuvu. Bano beewuunyisizza abagenyi abaakungaanye okubajagulizaako olw’ekkula lino bwe baabagaanye okubawa ebirabo byonna ebikalu ebigenda eri bbo ng’abantu. Bakazimba baasazeewo nti ebirabo byonna Abakulisitaayo n’abantu abalala ababaagaliza ebirungi bye bandibawadde […]

Bp. Kagodo Acoomedde Abakulembeze ba Disitulikiti y’e Mukono Olw’obutatuukiriza Buvunaanyizibwa

Bya Wilberforce Kawere Omulabirizi w’e Mukono Enos Kitto Kagodo acoomedde abakulembeze n’abaddukanya disitulikiti y’e Mukono olw’okulemererwa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe. Omulabirizi Kagodo abadde ku kitebe kya disitulikiti nga yeetebye mu kulonda olukiiko oluteekateekera n’okukulaakulanya disitulikiti olumanyiddwa nga Mukono Development Forum (MDF), n’agamba nti ekitundu kino n’okusingira ddala ekibuga Mukono kikyali mabega nnyo mu by’enkulaakulana bw’ogeraageranya ne […]

You cannot copy content of this page