Makerere University Egguddewo Sir Edward Muteesa II Museum

Yunivasite y’e Makerere ng’ekolera wamu n’Obwakabaka bwa Buganda ezimbye ekkaddiyizo lya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II nga lituumiddwa Sir Edward Muteesa II Museum. Ekkaddiyizo lino ligguddwawo Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga olwa leero ku Ssetendekero wa ono mu kibuga Kampala. Ekifo ewateereddwa ekkadiyizo lino, Ssekabaka Muteesa II mwe yasulanga mu biseera we yasomera e Makerere, era […]

Gavumenti Eriwa Ng’ebisale By’amasomero Birinnya Ng’ebiri ku Masannyalaze-Bakulembeze e Wakiso Babuuza 

Bya Tony Evans Ngabo  Abakulembeze abali ku mutendera ogw’eby’obufuzi mu disitulikiti y’e Wakiso si basanyufu olw’engeri amasomero gye galinnyisizzaamu ebisale n’ebulayo wadde omukulu mu minisitule y’eby’enjigiriza oba mu gavumenti avaayo okukuba ku nsolobotto ab’amasomero abagufudde omugano okukanda abazadde ensimbi nga balinga ze baabateresa. Bano nga bakulembeddwamu omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty […]

Ssentebe Bwanika Yeeweredde Abazadde Abatasasulira Baana Bisale Bya Masomero

Bya Tony Evans Ngabo Oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB okufulumya ebyava mu bigezo bya S.4 wiki ewedde nga disitulikiti y’e Wakiso ereebezza disitulikiti endala, abakulu b’amasomero wamu n’abakulembeze bagamba ekyo kikyali kituuza, mubalinde ne mu bya S.6 n’omwaka ogujja.  Bano bagamba nti bagenda kwongera amaanyi mu masomero n’agabadde gakyali wansi mu […]

Ettendekero lya St. Benedict Technical Institute Kisubi Litikkidde 300

Bya Tony Evans Ngabo Ettendekero ly’eby’emikono erya St. Benedict Technical Institute Kisubi mu disitulikiti y’e Wakiso litikkidde abayizi abakuguse mu masomo g’eby’emikono ag’enjawulo abasobye mu 300. Amatikkira gano ag’omulundi ogw’okubiri gakulembeddwamu Minisita wa Ssaayansi ne Ttekinologiya, Dr. Monica Musenero. Akulira ettendekero lino Peter Kabunga Ssendi agambye nti ku bayizi 300 abatikiddwa mu masomo ag’enjawulo bakakasa […]

Ssentebe Bwanika Acoomedde Abatwala Eby’obulamu e Wakiso

Bya Tony Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika acoomedde abakulira eby’obulamu mu disitulikiti eno olw’okulagajjalira ensonga z’eby’obulamu nga bano ebiseera ebisinga babimalira mu zi ‘workshop’ okusinga okukola emirimu egya baweebwa. Bwanika ategeezezza nti abasawo naddala  abali mu bifo eby’enkizo obudde obusinga babumala mu kulya bikyepere mu zi wooteeri ze babeeramu […]

Mutabani W’Omugagga Ayise S.4 Yeewangulidde Bukadde 

  Livingston Kizza Lugonvu nga mutabani w’omugagga Wilson Mukiibi Muzzanganda essanyu alina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’okuyitira waggulu ebigezo bya S.4.  Lugonvu ng’abadde asomera ku ssomero lya Uganda Martyr’s e Namugongo yafunye obubonero 8 n’aleka omugagga Muzzanganda nga musanyufu bya nsusso. Ono ng’ebibuuzo we byafulumidde y’abadde ali ku ssomero lya taatawe erya Muzza High […]

Ab’ekkomera e Kitalya Beekokkodde Omujjuzo Gw’abasibe

Bya Tony Evans Ngabo Abatwala ekkomera lya gavumenti erya Kitalya Mini Max Prison beekokkodde omujjuzo gw’abasibe abali mu kkomera lino ogwongera okulinnya buli lukya. Bano bagamba nti wadde ekkomera lino lirina okubeeramu abasibe 2000, we twogerera ng’abaliyo bakunukkiriza kuwera 3000, ekibaleka mu kusomooza okwamaanyi. Bino abatwala ekkomera ly’e Kitalya babitegeezezza bammemba b’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka […]

Kabaka Alambudde Omulimu Gw’okuzzaawo Amasiro G’e Kasubi

Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi okulaba w’e gutuuse. Omuteregga asiimye ebikolebwa n’agamba nti omulimu guwa essuubi era guzzaamu amaanyi. Mu masiro  g’e Kasubi we wasangibwa ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga ng’eno Bassekabaka ba Buganda abana abasembayo mwe baaterekebwa. Amasiro gano abatamanyangamba baagateekera omuliro nga March 17, 2010 nga […]

Essanyu Nga Mutabani wa Katikkiro Mayiga Agattibwa ne Mwana Munne

Eklezia mu Lutikko e Lubaga ewuumye nga Charles Bbaale Mayiga Junior, mutabani wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeewangulira obufumbo obutukuvu. Charles Bbaale Mayiga Junior agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne mwana munne, Sonia Elizabeth Nabagereka, ng’omusumba wa Klezia ow’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba y’akuliddemu omukolo guno. Omukolo guno gusitudde ebikonge okuli Maama wa Buganda, […]

Nambooze Awakanyizza Eky’okusengula Bbalakisi ya Poliisi Bagaziye Eddwaliro ly’e Mulago

Omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke awakanyizza enteekateeka ya gavumenti ey’okusengula bbaalakisi ya Poliisi esangibwa e Mulago olw’eteekateeka yaayo ey’okugaziya eddwaliro lino erya Mulago National Referral Hospital. Nambooze agamba nti tewategekeddwawo kifo we bagenda kusengulira baserikale ababadde mu kifo kino ye ky’agamba nti kikyamu kubanga nabo bantu abatasaanidde kuyisibwa ng’eky’omunsiko. Omubaka […]

You cannot copy content of this page