Poliisi Y’akukunya Abakulu mu Bwakabaka bwa Buganda 6 ku Byekuusa ku Ttemu Ly’omukulu W’ekika Ky’Endiga

Poliisi ng’eri wamu n’ebitongole by’eby’okwerinda ebirala enyinnyittizza okubuuliriza ku butemu bw’emmundu obwakoleddwa ku mukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa eyakubiddwa amasasi agaamutiddewo ku Ssande e Lungujja mu kibuga Kampala. Wabula ekitiisa mu nsonga eno, kwe kuba nti okubuuliriza kwa poliisi kusonze ne mu bamu ku bakungu mu Bwakabaka bwa Buganda nga mukaaga ku bano […]

Gavumenti Ewadde ba Ssentebe B’amagombolola 27 Pikipiki e Wakiso

Bya Tonny Evans Ngabo Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu mu ggwanga ekakasizza nga bw’egenda okulowooza ku nsonga y’okwongera disitulikiti y’e Wakiso ensimbi okukira ku ndala olw’ekikula kyayo, emirimu egikolebwayo n’obungi bw’abantu abalimu. Kuno kwe kugattiddwa n’okukkiriza okusuumuusa eggombolola ya Wakiso Mumyuka etuuke ku mutendera gwa ttawuni kkanso.  Kino kiddiridde ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr Matia […]

Wuuno Omusajja Eyasse Omukulu W’ekika Ky’Endiga

Ekifaananyi ky’omusajja Enock Sserunkuuma agambibwa okukuba amasasi agasse omukulu w’ekika ky’endiga kizuuse. Sserunkuuma yattiddwa abantu oluvannyuma lw’okukuba amasasi Omutaka w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yagambye nti Sserunkuuma yabadde mutuuze w’e Lungujja mu divizoni y’e Lubaga mu kibuga Kampala. Abatuuze mu kitundu gye yali abeera e […]

Abasomesa Abatalina Ddiguli Ssaawa Yonna Akalimu Kaggwawo-Muddeeyo Mangu Musome

Bya Tonny Evans Ngabo  Abasomesa abatannafuna buyigirize butuuka ku ddiguli baweereddwa amagezi okuddayo amangu basome ng’embeera tennaboonoonekera. Godfrey Kiyingi Kinobe, atwala eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti ssaawa yonna gavumenti egenda kuteeka mu nkola etteeka ly’abasomesa eriragira buli musomesa okubeera n’obuyigirize obwa ddiguli nga kino bwe kinaakolebwa bangi emirimu gyakuggwawo. Kinobe bino yabyogeredde ku […]

Kitalo! Omukulu W’ekika Ky’Endiga Akubiddwa Amasasi Agamuttiddewo

Obwakabaka bwa Buganda baguddemu encukwe, Omukulu w’ekika ky’endiga, Lwomwa Daniel Bbosa bw’akubiddwa amasasi agamuttiddewo. Lwomwa kitegeerekese ng’abazigu abatannategeerekeka amasasi bagamukunidde Lungujja, okumpi n’awaka we. Ono amasasi bagamukubidde mu mmotoka ye nga n’okutuusa essaawa eno Poliisi tennavaayo na kikwata ku ttemu lino. Ebisingawo ku mboozi eno Kyaggwe TV yakubikutusaako.  

Okusenda Ebisaawe By’amasomero Kikosa Eby’emizanyo mu Ggwanga-Bwanika

Bya Tonny Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika alaze okutya nti wandibaawo ekkobaane ery’okutta eby’emizannyo mu ggwanga okuggwerawo ddala. Bwanika agamba nti mu mbeera ng’abantu beefunyiridde ku kusanyaawo ebisaawe by’amasomero ga gavumenti mu ggwanga nga bwe bazimbako zi akeedi, kiba kiteeka mu  katyabaga ebiseera by’eby’emizannyo by’eggwanga lino eby’omu maaso. “Ebitone […]

Tik Toker Pressure Asindikiddwa Luzira mu Gw’okuvvoola Kabaka

Omuvubuka Ibrahim Musana (27) amanyiddwa nga Pressure 24 Seven abadde yeegumbulidde okukozesa omutimbagano naddala ogwa Tiktok okuvvoola Ssaabasajja Kabaka, asomeddwa mu kkooti n’asomerwa emisango 8. Pressure emisango gino agyegaanye n’asindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga March 07, 2024. Ono asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi, n’amusomera emisango […]

Abagenze mu Loogi Okwesanyusa Beeremeddemu ne Badda mu Miranga

Ebyewuunyisa nga bwe bitaggwa mu nsi, abatuuze mu tawuni kkanso y’e Buwenge mu kibuga ky’e Jinja beerabidde katemba atali musasulire ab’omukwano abaagenze mu loogi okwesanyusaamu ate bwe beeremeddemu. Abakozi mu Jojo Bar and Lodge bassizza abantu enseko bwe baagambye nti mu kiro ekyakeesezza Olwokuna, ab’omukwano bano beesozze akasenge era ne batandika okukola ogwabatutte. Bano mu […]

Gavumenti Ewadde Abatuuze ku Kizinga Ky’e Bussi Amasannyalaze

Bya Tonny Evans Ngabo  Ssentebe wa district ye wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika ssi musanyufu olw’abakulu mu gavumenti naddala minisitule y’eby’entambula mu ggwanga olw’okulemererwa okukola ku nsonga eziruma abantu mu bizinga by’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso ekireetedde n’abakozi ba gavumenti be basindika mu bizinga okugaana okukolera e Bussi nga kigootanyizza nnyo obuweereza bw’emirimu mu […]

You cannot copy content of this page