Embaga y’ebyafaayo yiino-Omusajja bamuwooye ne hakki ze musanvu!

Ebyafaayo nga bwe bitaggwa mu nsi, omusajja wuuno akoze ebyafaayo olwaleero bwe bamuwooye ne bakyalabe musanvu be ddu. Ono yasoose kubanjula omu kw’omu ng’ababiri ku bano baaluganda omu yadda ku munne nga yabayanjulidde mu maka ga kitaabwe mu kwanjula era okwabadde okw’ebyafaayo. Bino bibadde ku kyalo Namasengere mu Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono ng’ab’eno bawuniikiridde […]

Ono Nsikonnene tawena-bamuwooye n’abakazi musanvu!

Ekyalo Namasengere mu Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono kiwuniikiridde omusajja Ssaalongo Habib Nkokonnene bw’atandise okuyisa ebivvulu ng’ayolekera omuziki ne bakyalabe musanvu b’agenda okuwoowebwa nabo. Omukolo guno guyindira ku kyalo Mugereka ekisangibwa mu ssaza ly’e Nakifuma, kinnya na mpindi n’ekyalo Namasengere kabwejumbira Nsikonnene kwe yazimba amaka ag’ebyafaayo mw’abeera ne bakyalabe omusanvu. Abantu abawerera ddala beesombye okubeerawo […]

Gravity Alabudde Abawagizi Abakyusakyusa Ennyimba ze ne Baziwemuliramu!

Omuyimbi Gravity Omutujju akooye abantu abamusibako eky’okubeera omuwemu era nti n’ennyimba ze ziwemula! Ono agamba nti ennyimba ze teziwemula ate naye kennyini tawemula wabula abamu ku bawagizi be bakola ensobi bwe badda ku nnyimba ze ne bazikyusakyusa ne baziggyamu amakulu amalala ate ne bakisiba ku ye mbu awemula, ky’agamba nti si kituufu. Omutujju Omukujjukujju nga […]

Maama W’omwana Wange Olwamukyawa N’anjokya Acid!

Eyali omusuubuzi w’eby’ennyanja omwatiikirivu mu bizinga by’e Koome mu disitulikiti y’e Mukono g’akaaba g’akomba oluvannyuma lw’omukazi gwe yazaalamu omwana n’amala n’amukyawa olw’obuyombi okumuyiira ‘acid’. Ssaalongo Yasin Lukwago (39) ye yeekokkola maama w’omwanawe Barbra Najjuka bwe baali babeera ku kizinga ky’e Ddamba mu ggombolola y’e Kkoome mu Mukono wabula bwe yamukya n’amulukira olukwe n’amuyiira ‘acid’. Lukwago […]

You cannot copy content of this page