Aba Scout ba St. Joseph Pilot School badduukiridde ba bbebi mu Nsambya Babies Home

Bya Lilian Nalubega  Abasikawutu bennyamidde olw’abakyala abazaala abaana kyokka ne babasuula ekibaviirako bangi okufa n’abo abalondebwa ne bakuzibwa abantu abatabalinaako luganda ne bakula nga tebalina mukwano gwa bazadde buli muntu gwe yandyetaaze. Abasikawutu bano bagamba nti omuntu yenna okukula obulungi aba asaana okusooka okuyonka ebbanga lye erisooka ery’emyaka ebiri nga bwe kirambikibwa obulungi abasawo era […]

Kitalo! Omuzira mu Bazira wa Radio CBS Afudde!

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa,  oluvannyuma lw’okufa kw’Omuzira mu Bazira owa Radio Y’obujjajja CBS FM. Kalema Kalikyejo ye Muzira mu Bazira owa Pulogulaamu Entanda ya Buganda eweerezebwa ku Radio CBS FM ng’ono ye w’omwaka 2006. Kalikyejo yafiiridde mu ddwaliro e Mukono nga abadde awangaalira ku kyalo Kayanja-Nnamataba ekisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono. Ku kyalo Kayanja kuno, ku […]

Fr. Kabenge Asabye Abagenda Okukola PLE Babakwase Katonda si Ssitaani

Ng’abayizi ba P.7 beeteekateeka okukola ebigezo byabwe ebya PLE ebinaatandika nga November 8 biggwe nga November 9, abazadde abatakkiririza mu Katonda baweereddwa amagezi ogukoma ku kusasulira abaana baabwe ebisale by’essomero babawe n’ebikozesebwa ebisigadde bamale babaveeko. Fr. Simon Peter Kabenge bano abawadde gaabuwa nti tebasaanidde kumala biseera mbu ate batwalira abaana baabwe obuti n’ebyawongo ebirala mbu […]

Bp. Kagodo akoze enkyukakyuka mu Basumba e Mukono

Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo yalangiridde enkyukakyuka mu basumba n’abaweereza abalala ab’ekkanisa mu bulabirizi bw’e Mukono. Enkyukakyuka zino omulabirizi yazirangiriridde mu kkanso y’obulabirizi ey’omulundi ogw’e 63 eyatudde mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokuna. Eno ye kkanso ya Bp. Kagodo ey’okubiri gy’akubirizza bukyanga atuuzibwa ng’omulabirizi w’e Mukono ow’okutaano nga 25/2/2023 ng’ono yasikira Bp. James […]

Nambooze Asitukidde mu Bakaluba-Twagala District Service Commission!

Mu mbeera ya ‘bbwa ddene ligambwako nnyiniryo’, omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke aludde ddaani n’asitukira mu munnakibiina munne ekya National Unity Platform (NUP) ng’ono ye ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Dr. Rev. Peter Bakaluba Mukasa ng’amusaba mbagirawo ateekewo embeera esobozesa okulonda akakiiko akagaba emirimu. Nambooze ng’akulembeddemu abeekalakaasi abaabadde bakutte ebipande ebiraga obutali […]

Mbaziira Ow’eby’ettaka e Mukono Asuze mu Kkomera

Ofiisa omukulu mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono akwatiddwa n’aggalirwa ng’entabwe eva ku mivuyo mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono. Robert Mbaziira y’akwatiddwa ku biragiro bya minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja mu lukiiko lwa bbalaza lw’atuuzizza e Mukono ku kitebe kya disitulikiti. Mbaziira okukwatibwa kiddiridde okumala ebbanga ng’abantu ab’enjawulo bajja baamwemulugunyaako ku bigambibwa mbu y’omu ku bali […]

Bp. Kakooza atongozza Kasangalabi parish, eya 33 mu Lugazi diocese

Mu kaweefube w’okusembereza Abakrsitu obuweereza bwa Klezia, Omusumba w’essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza agguddewo ekigo eky’amakumi asatu mw’ebisatu (33) mu ssaza lino. St. Anthony of Padua Kasangalabi kye kigo ekyagguddwawo ku Mmande ku lunaku Ugana kwe yafunira ameefuga. Kino kisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono mu disitulikiti y’e Mukono. Bp. Kakooza ekigo […]

David Lutalo Alaze Bw’asajjakudde, Ky’akoze e Mukono Kika!

Omuyimbi w’ennyimba z’omukwano David Lutalo ayongedde okweraga eryanyi oluvannyuma lw’okukuba Cricket Oval e Lugogo n’agifukamiza ate n’alumba n’e Mukono ku Colline Hotel n’akola kye kimu. Wadde Lutalo tali mu bayimbi abeesoma nga bwe bali ab’amaanyi era abeepikira ono oba oli mu battle, engeri gy’ayimba, ennyimba ze kumpi ezisoba mu 100, engeri buli luyimba gye lulinamu […]

Romano Valentino, Ssentebe w’ekyalo Nabuti eyakubiddwa Mutabaniwe Aziikiddwa mu Bitiibwa

Nnamungi w’omuntu yeeyiye mu kuziika abadde ssentebe w’ekyalo ky’e Nabuti ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono ng’ono akulungudde emyaka 37 bwe ddu nga y’ali mu mitambo gy’ekyalo kino nga ssentebe. Romano Valentino ng’afiiridde ku myaka 64 kigambibwa nti obulwadde obwamusse bwava ku nsambaggere n’okuvulungibwa mutabaniwe Monaco Valentino ow’emyaka 19 omwezi nga gumu […]

Maama Azadde Omwana N’amusuula mu Ttooyi Y’eddwaliro

Maama kalittima ali mu kunoonyezebwa poliisi oluvannyuma lw’okuzaala omwana n’amunyugunya wansi mu kaabuyonjo y’eddwaliro lya Mukono General Hospital. Abakyala ababadde bagenze okugemesa abaana baabwe ku ddwaliro lino bwe bagenze okwetaawuluza mu kaabuyonjo be bawulidde ng’omwana akaaba ne batemya ku basawo nabo abayise poliisi. Bino bibaddewo ku makya ga leero ku Lwokusatu September 20, 2023. We […]

You cannot copy content of this page