Isaac Ssemakadde ne ne Kiryowa Kiwanuka.

Ssemakadde Emirimu Agitandise na Maanyi-Agobye Ssaabawolereza wa Gavumenti ku Lukiiko

0 minutes, 47 seconds Read

Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga ki Uganda Law Society, Isaac Ssemakadde emirimu agitandikidde mu ggiya nnene. Ssemakadde yagobye Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka ne ‘Solicitor General’, Francis Atoke ku lukiiko lw’ekibiina kino wamu n’ababakiikirira.

Okusinziira ku bbaluwa gye yafulumizza akawungeezi k’eggulo ku Mmande, Ssemakadde alumiriza Kiryowa Kiwanuka okufutyanka akalulu k’obwa pulezidenti bw’ekibiina kino (ULS) akaakaggwa ye kennyini Ssemakadde ke yawangula.

Bp. Kagodo Hails Directors of Mukono Parents High School as it Celebrates 25 Years of Existence

Ono era avunaana Kiryowa Kiwanuka okugaana okuyimiriza kkampuni ye ey’amateeka oluvannyuma lw’okulondebwa ku bwa Ssaabawolereza wa gavumenti, okufiiriza Gavumenti ensimbi eziri mu buwumbi n’emisango emirala gy’agamba nti yagizza nga yeekobaanye ne banne bwe bagobeddwa.

Ye Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ne banne bwe bakwatiddwa ku nkoona tebannavaayo kwanukula kugobebwa kwabwe era kye bazzaako tekinnategeerekeka.

The post Ssemakadde Emirimu Agitandise na Maanyi-Agobye Ssaabawolereza wa Gavumenti ku Lukiiko appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page