Mgrs. Kayondo Asabidde Abagenda Okukola Ebya UNEB ku Ssomero lya St. Francis Borgia

1 minute, 53 seconds Read

Bya Kawere Wilberforce

Eklezia katolika yennyamidde olw’obusiwuufu bw’empisa obweyongera mu baana buli lukya. Ng’akulembeddemu mmisa ey’okusabira abayizi abateekebwateekebwa okukola ebigezo eby’akamalirizo okuli aba P.7, S.4 ne S.6 okuva mu masomero ag’enjawulo nga bakungaanidde ku St. Francis Borgia High School e Buguju mu kibuga Mukono, omubeezi w’omusumba atwala essaza ly’e Lugazi, Msgr. Dr. Richard Kayondo asabye abazadde okukwasizaako abasomesa mu kulungamya abaana okulaba nga badda n’okutambulira mu kkubo eggolokofu.

Kayondo agambye nti abaana basiiwuuse nnyo  empisa ensangi zino ne batuuka n’okutambula nga balya mu makubo, okuvuma n’okutyoboola abalala omuli n’abantu abakulu, obutabuuza n’obutassa kitiibwa mu bantu.

Ono asabye abayizi bano abagenda okutuula ebigezo okwekwata ku Katonda kuba y’agenda okubasobozesa okukola obulungi.

Kayondo asinzidde wano n’akowoola Abakristu bonna mu ssaza lino ne Uganda yonna okuwagira n’okwenyigira mu nteekateeka z’okulamaga e Namugongo omwaka ogujja ezinaakulemberwamu essaza lya klezia ery’e Lugazi.

Abakulu b’amasomero gano nga bakulembeddwamu Henry Ninda owa St. Francis Borgia High School baategeezezza abeetabye ku mukolo nti bateeseteese bulungi abayizi bano okukola ebigezo era bagenda kubiyitira waggulu kuba Katonda omubeezi waabwe baamwekwata dda nga tayinza kubayiwa.

Ninda asinzidde wano n’anokolayo  ebikoleddwa mu mwaka guno ku ssomero lino erya Borgia omuli okuzimba ekizimbe galikwoleka abayizi mwe basomera nga kino kya kkalina, okutereeza oluggya lw’essomero nga balukolako emirimu egy`enjawulo n’ebirala.

Ono era ategeezezza nti bateekateeka okuzimba bbugwe ku ssomero lino mu bbanga eritali ly’ewala n’okuteeka kkamera enkessi mu ssomero okusobola okutangira n’okukwata abamenyi b’amateeka abasaalimbira mu ssomero, n’ebirala bingi ebisuubirwa okukolebwa.

Ku mukolo guno, Vicar General Kayondo aweereddeko abaana 261 essaakalamentu lya Kofirimansiyo era nga bano bafuuse Abakrisitu abajjuvu.

Mu ngeri y`emu essomero lino mu mwezi guno likuzizza emyaka 13 bukyanga litandikibwawo era Vicar General  ayozaayozezza abayizi, abasomesa, abazadde n’abaliddukanya okutuuka ku myaka gino nga bali mu nsiike y’eby`enjigiriza.

Ku mukolo guno, Kayondo atongozza n’omulimu gw’okuzimba ekisulo ky’abayizi ab’obuwala nga kya kusuza abayizi 827 nga kiwedde.

Ono era agguddewo ekifo abayizi n’abasomesa we basabira oba okwegayirira (Grotto) ekituumiddwa Marian Prayer Garden nga kizimbiddwa abazadde n’abayizi b’essomero.

The post Mgrs. Kayondo Asabidde Abagenda Okukola Ebya UNEB ku Ssomero lya St. Francis Borgia appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page