Gavumenti Yakwongera Amaanyi mu Kutumbula Ebitone mu Baana N’abavubuka

1 minute, 27 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

| WAKISO | KYAGGWE TV |

Gavumenti ekakasiza nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kutumbula eby’emizannyo naddala emisinde, okusamba emipiira, okubaka, volleyball n’ebirala. Okuvaayo kiddiridde Munnauganda Joshua Cheptegei okuteeka bendera ya Uganda ku mmaapu bwe yawangudde omudaali gwa Zaabu mu kutolontoka embiro empanvu eza mmita omutwalo mu mizannyo gya Olympics egiyindira e Bufalansa.

Obweyamu buno bwabadde mu bigambo bya Ssaabaminisita wa Uganda, Robinah Nabbanja ng’ono yabutisse Minisita wa Kampala, Hajjati Minsa Kabanda bwe yabadde omugenyi omukulu mu kusimbula emisinde gi mubuna byalo egyategekeddwa Klezia ya St. Jude e Wakiso okusonderako ensimbi ez’okuzimba Klezia.

Minisita Minsa Kabaka n’abakulembeze.

Kabanda yategeezezza nti yaddenga bazenga bawagira emizannyo egy’enjawulo, naye ate kati bagenda kwongeramu amaanyi mu kuzimba ebitone.

Ssaabaminisita Nabbanja aba St. Jude yabakubye enkata ya bukadde kkumi basobole okuzimba eklezia empya enaatuuza Abakristu abasoba mu 4000.

Ye Minisita Minsa Kabanda mu ngeri y’emu yasabye bannaddini okuyambako gavumenti mu kusomesa abantu pulogulaamu ez’enjawulo omuli n’ez’okubajja mu bwavu gamba ng’emyooga, PDM n’endala.

Omuddusi Dorcus Inzikuru, Omubaka Naluyima n’abalala nga bakola dduyiro.

Bbo abakulembeze okuli ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr Matia Lwanga Bwanika, omubaka wa palamenti owa Busiro East wamu n’omubaka omukyala owa disitulikiti eno, Betty Ethel Naluyima baagambye nti ebitone ssinga bikwatibwa  bulungi byakuyamba ne ku kizibu ky’ebbula ly’emirimu ekikaabya abavubuka mu ggwanga lino akayirigombe.

Emisinde gino egy etabiddwamu abantu abasoba munkumi ssatu omwabadde n’omuddusi wa Uganda nnakinku, Docus Inzikuru ng’ono yasabye gavumenti obutatunuulira muzannyo gwa misindi gwokka wabula batunuulire n’ebitone ebirala bizuulibwe ku myaka emito olwo basobole okuyamba bannanyinibyo okufuna obukodyo basobole okuwaguza okutuuka ku ddaala ly’ensi yonna.

The post Gavumenti Yakwongera Amaanyi mu Kutumbula Ebitone mu Baana N’abavubuka appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page