Ssaabasumba Ayambalidde Abazadde N’abasomesa Abaganza Abaana Abato

1 minute, 12 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo 

Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere ayambalidde abazadde abaami n’abasomesa abeegbulidde okukkira abaana abato ne babasobyako.

Ssaabasumba agambye nti ekikolwa kino kiswaza nnyo ssi eri abokka abakikola ne ffamire zaabwe wabula n’eggwanga lyonna.

Ssaabasumba okukangula ku ddoboozi abadde akulembeddemu ekitambiro ky’emmisa ey’okukuza olunaku lw’Omutukuvu Yowaana Maria Muzeeyi wamu n’okusonda ensimbi ez’okuzimba eklezia eno esangibwa e Kitukutwe mu divizoni y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kitaffe mu Katonda ategeezezza nti omuze guno tegukoma mu bazadde oba ab’enganda bokka wabula ate era n’abasomesa nabo bakyalemeddwa okwefuga bano nga beefudde mmo mu kuganzika abayizi mu bikolwa eby’abafumbo.

Anokoddeyo ensonga Pulofeesa omu agambibwa okukabasanya omwana aliko obulemu mu Yunivasite y’e Kyambogo ng’eno mu kiseera kino aliira ku nsiko ng’eky’ennaku ono omwana ono muzibe yamusiiga n’ekirwadde kya siriimu.

Alabudde n’abazadde okukomya okwesuulirayo ogwa nnaggamba ku nsonga y’okugunjula abaana ab’obulenzi ng’essira basinga kuliteeka ku baana bawala ky’agambye nti kya kukosa omulembe ogujja ebitagambika ng’abawala bafuna abasajja abatamanyi kyakukola.

Bannabyabufuzi okubadde omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso mu palamenti, Betty Ethel Naluyima, omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda ne meeya wa munisipaali y’e Kira  Julius Mutebi Nsubuga nabo bagasse eddoboozi ku nsonga ya Ssaabasumba ey’okulaba ng’abaana b’eggwanga bakuumibwa butiribiri ewatali kutuusibwako bulabe.

Rev. Fr. Vicent Lubega, Bwannamukulu w’ekigo kino yeebazizza Abakristu abavuddeyo mu maanyi okuwagira omulimu gw’okuzimba ennyumba yOmukama.

Ensimbi ezikunukkiriza mu buwumbi busatu ze zeetaagibwa okukola omulimu gw’okuzimba Eklezia eno nga yaakutuuza abakristu abawerera ddala.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page