Abakulira Amasomero Bakyemulugunya ku Nsomesa Empya Aba S4 Gye Bagenda Okukoleramu Ebigezo

1 minute, 57 seconds Read

Bya WilberForce Kawere

Ng’ebigezo by’akamalirizo eby’ekitongole ekya UNEB bitandise olunaku olwa leero ku mutendera gwa S4, n’okubuulirira abayizi n’okubayisa mu biki bye balina okugoberera ebbanga lye bagenda okumala nga bakola ebigezo, eriyo abakulu b’amasomero abawadde endowooza zaabwe ku nsomesa empya amanyiddwa nga New O Level Competence Base Curriculum ng’abayizi bano bye bigezo bye bagenda okukola.

Bano bagamba nti wadde emyaka kumpi giri etaano bukyanga ensomesa eno etandikibwawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsoma ekya National Curriculum Development Centre (NCDC), abasomesa ne we butuukidde olwa leero nga tebannaginnyonnyoka bulungi.

Nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekibiina ekigatta abakulu b’amasomero ag’obwannannyini mu Ntenjeru – Kisoga Town council era nga ye mukulu w’essomero lya Ntenjeru Parents High school, John Mwesigwa bagamba nti abasomesa baabwe tebaafuna kubangulwa kumala ku bikwatagana n’ensomesa eno eya New Curriculum era nti bangi bakyali mu kutetenkanya butetekanya okulaba nga bayisaawo abayizi baabwe.

Na bwe kityo, Mwesigwa agambye nti kyandisanye Minisitule y’eby’enjigiriza ekwatagane n’ekitongole kya NCDC baddemu okutegeka emisomo eginaayamba abasomesa okwongera okubanguka mu nsomesa eno.

“Abasomesa bakyasanga obuzibu ku nteekateeka y’ebibuuzo mu nsomesa eno, okugaba obubonero n’embeera endala okusinziira ku buli muntu ssekinnoomu. Gavumenti oba abakulu abakwatibwako ensonga eno baleme kusinziira ku masomero ga mu kibuga balowooze nti buli kimu kiri bulungi, eno ewaffe mu byalo embeera ekyali mbi wadde ng’ate eky’okukola tetulina, tulina okubuukira etokota ne tukola nga bwe tulaba kanaggweramu eyo…” bwe yannyonnyodde.

Mwesigwa era yasabye gavumenti okulaba ng’ebikozesebwa okusomesa mu nteekateeka eno bikendezebwako ku musolo nti kuba byabuseere nnyo ng’amasomero agasinga obungi tegabisobola kubigula.

Students, Teachers Show Readiness as the New Curriculum-Based S.4 Exams Get Closer

Deogratius Waddimba Mugwanya nga ye mukulu w’essomero lya gavumenti erya Sir. Apollo Kaggwa S.S erisangibwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono mwenyamivu olwa gavumenti okuleeta enteekateeka eno nga tesoose kubangula basomesa bonna bulungi kimala ku butya bwe balina okugisomesa abayizi esobole okuvaamu obulungi.

Ate ye Ssaalongo Robert Mayemba omukulu w’essomero lya gavumenti erya Namakwa S.S agamba nti Curriculum eno ekalubyemu olw’okuba nti yeetaaga ebikozesebwa ebyeyambisibwa mu kunoonyereza omuli amasimu ga sseereza, kkompyuta, n’ebirala bye batalina era nga kino kikaluubirizza nnyo ensomesa eno n’asaba gavumenti ebakwatireko.

 

The post Abakulira Amasomero Bakyemulugunya ku Nsomesa Empya Aba S4 Gye Bagenda Okukoleramu Ebigezo appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page