Ekyalo Kisatidde Olw’omuvubuka Eyeetugidde mu Luggya Lwa Kitaawe

1 minute, 2 seconds Read

Abatuuze ku kyalo Buliba mu Buvuma ttawuni kkanso baaguddemu encukwe omuvubuka bwe yeesuddeemu akalogojjo ne yeeyimbamu omuguwa ne yeetuga n’afa.

Ekyasinze okuggya abatuuze enviiri ku mutwe, kwe kuba nti kalibutemu ono Godfrey Kateregga yeetugidde mu luggya lwa kitaawe, Lukoma Syrus Maliteni.

Poliisi y’e Buvuma yayitiddwa n’etuuka n’omusawo ne beekebejja omulambo era oluvannyuma lw’okukikakasa nti ddala kituufu ono yabadde yeetuze bwetuzi, yakkirizza ab’oluganda okugenda mu maaso n’enteekateeka z’okuziika. Ekikangabwa kino kyaguddewo ku Lwokusatu nga September 11, 2024.

Abatuuze bategeezezza omusasi wa Kyaggwe TV nti omuze gw’okwetuga mu ffamire eno mweguli nga gugenda gulondoola musaayi.

Bano bagambye nti ne jjajja wa Kateregga omusajja eyali ayitibwa Maliteni naye yeetuga sso ng’ate jjajjaawe omukazi eyali ayitibwa Dimintiriya naye yeesuula mu nnyanja n’afa.

Godfrey Kateregga nga bw’abadde afaanana.

Akakiiko K’eby’okulonda Kagobye Okusaba kwa Besigye ne Banne Okuwandiisa EKibiina Ekipya

Kitegeerekese ng’omugenzi yalese abaana bana nga bano maama waabwe yali yafa. Abatuuze bagamba nti Kateregga kitaawe yamuwa omugabo gwe ogw’obusika n’abitunda byonna ensimbi n’azikuba ku mimwa nga bwe byaweddeewo ng’eky’okuzzaako takiraba kwe kusalawo okweyimbamu ogwa kabugu yeggye mu budde.

The post Ekyalo Kisatidde Olw’omuvubuka Eyeetugidde mu Luggya Lwa Kitaawe appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page