Kkansala Agaanye Okufuluma mu Kkanso Mwe Bamugobye Poliisi Emukutte

2 minutes, 22 seconds Read

Nakasi era abadde avunaana Ssempaka olw’okusiwuuka empisa, okweyisa ng’ekitagasa n’obutassa kitiibwa mu ntebe ye nga sipiika wa kkanso naye ng’omuntu akubiriza kkanso ya disitulikiti.

Poliisi y’e Mukono ekutte n’eggalira kkansala akiika mu kkanso ya disitulikiti lwa kujeema kufuluma mu kkanso mwe yagobwa olw’okusiwuuka empisa.

Bernard Ssempaka akiikirira ttawuni kkanso y’e Nakifuma-Naggalama mu kkanso eno y’akwatiddwa ku biragiro bya sipiika wa kkanso, Betty Hope Nakasi.

Nakasi abadde alanga Ssempaka kusiwuuka mpisa bw’amulagidde okufuluma mu kkanso ng’agamba nti ekibonerezo ekyamuweebwa olw’okwogera kalebule ku kkanso nti tekiggwangako wabula n’awalaaza empaka n’atandika kuwaanyisiganya bisongovu naye.

Underfunding of Mukono District Referral Hospital Worries Councilors

Nakasi era abadde avunaana Ssempaka olw’okusiwuuka empisa, okweyisa ng’ekitagasa n’obutassa kitiibwa mu ntebe ye nga sipiika wa kkanso naye ng’omuntu akubiriza kkanso ya disitulikiti.

Ssempaka okukwatibwa kiddiridde Nakasi okumulagira okufuluma mu lutuula lwa kkanso ya leero etude ku Lwokusatu ng’amulanga kumenya mateeka bwe yayogera kalebule ku ye nga sipiika ng’agamba nti yawa bakkansala enguzi okusobola okuyisa bbajeti ya disitulikiti nga kino kyamulema okuwaako obujulizi era n’agoba mu kkanso okumala entuula bbiri ng’agamba nti luno lubadde lwakubiri.

Nakasi alagidde omusirikale wa kkanso (sergeant at arms) okufulumya Ssempaka kyokka ono nga mukyala bw’agezezza okufulumya Ssempaka ne yeerema n’ayita omusirikale wa poliisi akuuma disitulikiti nga n’ono naye mukazi.

Sipiika wa kkanso y’e Mukono, Betty Hope Nakasi ng’ali mu mitambo gya kkanso.

Wabula omusirikale wa poliisi ono amanyiddwa nga Nakiboneka ne Vicky akola obwa sergent at arms beegasse ne bafulumya Ssempaka ekisenge omuteesezebwa nga balinga abatwala omubbi w’akagaali. Kyokka ng’era Ssempaka bw’atanywa kuteeka, bano abayisizzaamu enyanguyangu ne n’atabaviirako awo ekibawalirizza okuyita poliisi okuva mu kayembe n’ereeta kabangali yaayo olwo Ssempaka emikono ne bagizza gye gitawemera ntungo.

W’osomera bino, nga Ssempaka ali ku poliisi gy’agenze abitebye ku misango egy’enjawulo egitannakakasibwa misango ki emituufu.

Nambooze’s Seat Attracts Tough Challengers Come 2026

Mu kwogerako ne Nakasi ategeezezza; “Ssempaka yaweebwa ekibonerezo kya butatuula mu ntuula za kkanso bbiri ez’omuddiringanwa ne mu ntuula z’obukiiko (committee) bbiri. Eby’embi, ate ku utuula lwa kkanso olw’okubiri tubadde tuli awo ng’omukulu agobye bumale. Ne bwe ngezezzaako okumulungamya, agaanye okuwuliriza.”

Wabula kkansala Ssempaka nga tanaba kukwatibwa poliisi ategeezezza nti sipiika Nakasi okumugoba mu ntuula za kkanso  amulanga kumulokoma gye buvuddeko nti yeenyigira mu bikolwa eby’obulyake.

Kyokka Nakasi ebyogerwa Ssempaka nti mulyake awedde emirimu abyegaanye ng’agamba nti matu ga mbuzi, anoonya kumuliisa ngo.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa asambazze ebyogerwa mu kitundu ky’akulembera ne ku mikutu emigatta bantu nti y’ali emabega w’entalo naddala ez’eby’obufuzi ezigenda mu maaso ku kitebe kya disitulikiti.

The post Kkansala Agaanye Okufuluma mu Kkanso Mwe Bamugobye Poliisi Emukutte appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page