Abatandisi B’amasomero G’obwannanyini mu Greater Mukono bBeemulugunyizza ku Musolo N’obukwakkuliro Bwa Gavumenti Ebibali mu Bulago

2 minutes, 43 seconds Read
Abamu ku bakulembeze mu kifaananyi ekya wamu.

Abatandisi b’amasomero g’obwannanyini mu disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma basisinkanye abakulembeze b’ekibiina ekibagatta mu Uganda ekya National Private Educational Institutions Association Uganda okusala entotto ku butya bwe bayinza okwanganga ebizibu ebibasomooza okusobola okusigala mu mulimu.

Mu bizibu bye banokoddeyo mulimu eky’emisolo egiyitiridde egibasabibwa ebitongole bya gavumenti eby’enjawulo okuli eky’emisolo ekya URA, ssaako gavumenti ez’ebitundu nga kw’otadde n’obukakkulizo obungi obubateekebwako ekibamalako emirembe mu mulimu gwabwe.

Akulira ekibiina ekigatta bannanyini masomero g’obwannanyini mu Greater Mukono, Sulaiman Kyebakoze Madada ng’ayogera.

Omukazi Eyayiira Maama ne Muwalawe Asidi Asindikiddwa mu Kkomera

Ensisinkano eno ey’olunaku olumu yatudde ku Mpoma Girls’ School erisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono nga ku lwa gavumenti, kkamisona avunaanyizibwa ku masomero g’obwannanyini, Mary Mutende, omulambuzi w’amasomero mu disitulikiti y’e Mukono, Moses Yiga ne RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka be babaddewo.

Akulira bannanyini masomero g’obwannanyini mu kitundu kino ekikola disitulikiti ennya, nga yaliko Minisita w’abakadde, Sulaiman Kyebakoze Madada yagambye nti gavumenti etaddewo olutindo lunene nnyo wakati waabwe ng’abatandisi b’amasomero g’obwannanyini nayo nga gavumenti olwo ne bakola gumu gwakubasolozaamu nsimbi z’omusolo omungi ssaako obukwakkulizo obubateekebwako obutakoma olwo abamu ku bbo ne batuuka n’okulemererwa ne bava mu bbizinensi.

Asadu Kirabira, ssentebe w’ekibiina ekigatta bannanyini masomero g’obwannanyini mu Uganda.

Madada ayagala gavumenti etuuze bannanyini masomero ebawulirize kuba omulimu gwe bakola bakwasiza ku yo kuba omulimu gw’okubangula n’okusomesa abaana b’eggwanga gwa gavumenti ng’okugikwasizaako nga batandika amasomero g’obwannanyini tegwandifuuse musango kutuuka kubabonereza mu ngeri ez’enjawulo nga bwe guli ensangi zino.

Asadu Kirabira nga ye ssentebe w’ekibiina kino ekigatta bannanyini masomero mu Uganda agamba nti mu misolo egibabinikibwa mwe muli n’okusasulira obupande obulagirira amasomero gaabwe gye gasangibwa nga buno UNRA ebwagalako ensimbi ate ne gavumenti ez’ebitundu ky’agamba nti kikyamu.

Kirabira agamba nti kyannaku okulaba nga UNRA ekirambika bulungi nti ebitongole omuli amalwaliro, amasomero, amakanisa n’ebirala ebiri mu kkowe eryo tebirina kusasula musolo ku bupande naye nga kino ate ku bbo tekituukirizibwa.

Kirabira yasabye gavumenti okubakwasizaako basobole okusitula omutindo gw’amasomero gaabwe naddala mu nteekateeka eya kkaliculamu empya etwaliramu ebibiina okuva mu S1-S4.

Moses Yiga omulambuzi w’amasomero mu disitulikiti y’e Mukono.

Eddwaliro ly’e Naggalama lijjanjabye ab’e Seeta-Namuganga ku bwereere

Ye Moses Yiga omulambuzi w’amasomero mu disitulikiti y’e Mukono yayogedde ku ky’amasomero ag’obwannanyini agawerako mu Mukono agamerukawo buli lukya nga n’eby’embi bano bwe babatuukamu nga babalaga bye balina okukola oba okubalagira okuggalawo bwe baba baremereddwa okutuukiriza ebisaanyizo ate babatiisatiisa okubatusaako obulabe omuli n’abalaalika okubaloga.

Ye RDC w’e Mukono, Fatuma Ndisaba yasabye gavumenti okutuuza ebitongole byayo okulaba nga bikkaanya ku butya bwe bikwatamu bayinvesita bano bannansi baleme kuba nga buli kivaayo kibasolooza busolooza nsimbi na musolo ekikosa obuweereza bwabwe.

RDC w’e Mukono, Fatuma Ndisaba Nabitaka.

Ndisaba yayogedde ne ku musolo ogusoloozebwa ku bupande obuteekebwa ku makubo okulagirira abantu amasomero nga UNRA ebisolozaako omusolo ate ne gavumenti ez’ebitundu amasomero gano gye gali kye yagambye nti kyetaaga okutunulwamu.

 

The post Abatandisi B’amasomero G’obwannanyini mu Greater Mukono bBeemulugunyizza ku Musolo N’obukwakkuliro Bwa Gavumenti Ebibali mu Bulago appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page