Ab’e Kira Bambalidde Ekitongole kya KCCA ku Nsonga Y’ettaka Ly’e Menvu ne Limbo y’e Bukasa Eyajjula

1 minute, 58 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

| KIRA | KYAGGWE TV | Ng’abakulembeze ab’okuntikko mu kitongole ekivunanyizibwa ku kibuga ekikulu Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) bakyaboyaana n’ekizibu kya kasasiro oluvanyuma lw’enjega eyagwawo mu bitundu by’e Kiteezi eyaviriddeko abantu abasoba mu 25 okulugulamu obulamu, abakulembeze ba munisipaali y’e Kira bambalidde bannaabwe aba KCCA nga babalanga okubasibako kalebule nga bwe bakkiriza okubawa ekifo ky’e Menvu okuyiwamu kasasiro bbo kye bagamba nti si kituufu.

Bano baasinzidde mu lukiiko lw’amawulire lwe baatuuzizza ku kitebe kya munisipaali e Kira ne bawakanya ebyogerwa aba KCCA nti bbo ab’e Kira wamu ne bannaabwe ab’e Nansana bakkiriza okuwaayo ekifo kyabwe ekisabgibwa e Menvu mu ggombolola y’e Busukuma okuyiibwamu kasasiro ava mu Kampala mu kiseera kino eky’akasattiro olwa kasasiro eyeetuumye mu Kampala olw’okuggalibwawo kw’ekifo ky’e Kiteezi ng’omulimu gw’okuyikuula ebisasiro ebyabuutikira amayumba g’abatuuze okuzuula emirambo egikyawagamidde wansi bwe kukyagenda mu maaso.

Abakulembeze abalala ab’e Kira mu lukungaana lw’amawulire lwe baatuuzizza e Kira ku Lwokubiri.

Meeya wa Kira, Julius Mutebi Nsubuga akkaatirizza nga bwe batanafuna kusabibwa kwonna kuva mu KCCA okukozesa ekifo kyabwe wabula nabo ebyogerwa babiwulira mu mawulire ne kumitimbagano nga mukadde kano ssibaakukkiriza muntu yenna kukozesa ttaka lyabwe mu ngeri ey’amankwetu.

Frank Ssemukuye nga ye ssipiika wa munisipaali y’e Kira wamu ne Gerald Kizito meeya wa divizoni y’e Kira bagamba nti beewunyizza bannaabwe mu KCCA obutamanya mateeka nga mu kifo ky’okwebuuza ku be kikwatako bbo bakola nga bwe baagala ekintu kye bagamba nti kikolwa kya bujoozi.

Herona Hospital Kisoga Conducts Free Eye Surgery Camp

“Akageri ekibuga Kampala gye kikulemberwa munnamateeka, Omuloodi Elias Lukwago ng’era kirina n’abakugu bangi mu buli nsonga, tetukisuubira kukola nsonga ng’ate abantu b’omu byalo. Tubasuubira okugoberera amateeka ku buli nsonga nga kw’otadde ne ku nsonga eno gye tuliko,” bwe baalambise.

Ate mu ngeri y’emu Bamutiire Willy Ssepi omukiise akiikirira abakadde ku lukiiko lwa Kira munisipaali agamba nti kye kiseera KCCA okuginaabira mu maaso esengule ne Limbo y’e Bukasa eyajjula gy’egamba nti nayo abatuuze baayo ebasuza ku teebuukya ng’emirambo bagisuulayo nga bwe baagala ekiviirako n’olumu embwa okugizikula ne zigiwalabanya okuyita ne mu nzigya z’abantu.

The post Ab’e Kira Bambalidde Ekitongole kya KCCA ku Nsonga Y’ettaka Ly’e Menvu ne Limbo y’e Bukasa Eyajjula appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page