Nambooze Ayambalidde Munnamateeka wa NUP George Musisi, Kkaadi z’ekibiina zibizadde!

3 minutes, 6 seconds Read

Oluvannyuma lw’ebbanga nga Munanmateeka w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) amakanda agasimbye mu kibuga ky’e Mukono gy’agambibwa nti ali mu kunoonya bululu okusiguukulula omubaka Betty Nambooze ku kifo ky’obubaka bwa palamenti, kyaddaaki Nambooze avuddemu omwasi.

Nambooze okuvaamu ekigambo kiddiridde Musisi okumalako wiikendi ng’atalaaga ebitundu eby’enjawulo mu divizoni y’e Goma ng’agaba kkaadi z’ekibiina ki NUP ku bwereere. Ono yabadde yeegattiddwako bakkansala abasuulawo omubaka Nambooze ne bava mu nkambi ye basala eddiiro okudda ewa Musisi gwe batinkiza naye ennaku zino nga ne kino omubaka kimusuza akukunadde nga lumonde mu kikata, mbu n’oluusi agugumuka ekiro ng’alaba Musisi amufubutula amugoba aliko by’amusuuza.

Musisi (ow’okubiri ku ddyo) nga yeenyigidde mu kuwandiika n’okugaba kkaadi z’ekibiina ku bwereere e Seeta.

Musisi ne banne basoose kutuuza lukungaana ku Voice 24/7 e Seeta era ng’ekisinde ky’okugaba kaadi zino kyatandikidde mu ddivizoni y’e Goma mwe batambulidde okwetoloola ebifo eby’enjawulo. Mu bifo bye baatuseemu mwabaddemu ssiteegi za bodaboda, obutale n’ebirala nga bawandiisa abantu abaagala okwegatta ku kibiina nga bwe babawa kkaadi.

Munnamateeka George Musisi nga ye yakulembeddemu kaweefube ono yategeezezza nti baataddewo kkaadi 500 ez’okugabira abantu n’ekigedererwa eky’okukwasizaako abo ababadde n’obwetaavu bw’okufuuka bammemba mu kibiina naye nga tebamanyi wa we bayinza kufuna buyambi.

Mu bali mu kkowe lino Musisi agamba nti mulimu abakyala abasiiba mu butale nga bakola, abavuzi ba bodaboda abatufuna budde kutambula kutuuka ku woofiisi za kibiina okusobola okwewandiisa.

Ono era avumiridde eky’abawozi b’ensimbi abamanyiddwa ennyo nga ba ‘money lender’ okuwambanga endagamuntu z’abantu ky’agambye nti kino kisomoozezza nnyo omulimu gwabwe ogw’okugatta bammemba abapya ku kibiina nga bayita mu kubawa kkaadi.

Ng’ayita ku mukutu gwe ogwa WhatsApp, Nambooze yavuddeyo n’avumirira abakulembeze abatandise okutalaaga ebyalo nga bagaba kkaadi z’ekibiina ku bwereere ng’abagaba ebinyeebwa ky’agamba nti kino si kituufu.

Abamu ku bakulembeze ba NUP mu munisipaali y’e Mukono nga bali mu kutalaaga ebitundu by’e Seeta.

Nambooze agamba nti oyo yenna Munnayuganda atalina busobozi bwegulira kkaadi ya kibiina, n’obwagazi mu kkyo aba tabulina. Agamba nti abantu ekikula kino abafuna kkaadi zino nga n’oluusi babakase nkake tebazirinaamu bwetaavu, be bagenda okuvaayo mu biseera by’okunoonya obululu balage nga bwe bakyuse okuva mu NUP okudda mu NRM olwo baweeyo kkaadi z’ekibiina olw’enkola ey’eby’obufuzi.

Obubaka bwa Nambooze bugamba bwe buti;

“Mugamba mutya banywanyi… Mpulira nti waliwo abagenda bagaba card za NUP nga abagaba ebinyebwa nti waliwo azibagulidde… Naye mutukoze bubi bakulu okuzanyira mu nnaku ya Bannayuganda! Muntu ki ayagala ekibiina atayinza kwegulira card? Muziwa abaliziwaayo beefuule abasaze eddiiro!!”

Kkaadi ya NUP egula nnusu 1000 zokka ng’eno y’ensonga lwaki omubaka Nambooze alowooza nti buli muntu mu ggwanga alina obusobozi okugyegulira.

Musisi era ayogedde ne ku bakulembeze abalowooza nti bagundiivu nnyo okusinga ku kibiina kya NUP nga na bwe kityo tebaagalira ddala muntu avaayo kwogera wadde okusonga mu bifo bye babaddemu kati ebbanga erikunukkiriza mu myaka 20 n’agamba nti bano ate nabo beefudde bannakyemalira nga Museveni gwe balwanisa olw’okweremeza mu buyinza ng’omukulembeze wa Uganda.

“Abakulembeze ekikula ekyo babi nnyo era baabulabe n’eri ekibiina kyaffe, kuba bbo ebifo byabwe babiraba ng’obwakabaka obw’omuggulu, wadde nga kino si kituufu. Abakulembeze ekikula ekyo, ekifo ky’obwammemba bwa palamenti y’egule bbo gye balwanirira, ffe nga tuli mu lutalo olunene olw’okwambala engule nga tuggyeko nnakyemalira, bbo ba nnakyala ebyo tebikyalina makulu gye bali, balwanirira kimu bifo byabwe,” Musisi bw’azzenga ayogera.

Ate abamu ku batuuze be twayogeddeko nabo abaafunye kkaadi baasabye abakulembeze b’ekibiina bateekewo okusomesebwa kw’abantu okumanya omugaso gw’okubeera ba mmemba mu bibiina by’eby’obufuzi.

 

The post Nambooze Ayambalidde Munnamateeka wa NUP George Musisi, Kkaadi z’ekibiina zibizadde! appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page