Kabaka Alambudde ku B’e Kyotera ne Bafa Essanyu

1 minute, 9 seconds Read

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awadde abantu be ab’e Kyotera mu ssaza lye ery’e Buddu essanyu bw’asiimye n’abalambulako.

Kabaka bano abatuseemu nga tebamanyi ne bamwekanga bwekanzi olwo buli omu n’ava ku by’abaddeko nga n’abamu kye babadde baaba nga tebakikkiriza.

Kabaka ng’awuubira ku bantu be.

Magulunnyondo, Cuucu, Lukoma Nnantawetwa bano abadde abawuubirako nga n’abamu asiimye n’abasikako mu mikono, olwo wamma ne kibula omukombi.

Abangu baggyeyo obusimu ne bakwata ebifaananyi n’abalala ne bakwata vvidiyo era mu kiseera kino, vvidiyo zino n’ebifaananyi bye bibuutikidde omutimbagano.

Kabaka abadde ky’aggye akomewo mu ggwanga okuva ebweru w’eggwanga mu mawanga ag’enjawulo okuli Germany n’e Namibia gy’abadde ng’ajjanjabibwa n’okuwummulako ng’agoberera ebiragiro by’abasawo.

Obuganda bwakuzizza amatikkira ga Nnyinimu ag’omulundi ogwa 31 wiiki ewedde era wadde teyasobola kwetaba ku mikolo gino butereevu egyali mu Lutikko e Namirembe, yasiima n’ayogerako eri abantu be ng’asinziira mu Lubiri.

Ono yalabula Abaganda ku bantu abeefunyiridde okubawubisa okuva ku nnono ya Buganda n’abasaba okubeerinda kuba bandiba nga balina ebigendererwa ebikusike ebitali birungi eri nnyaffe Buganda.

Kabaka azzenga alabikira abantu mu ngeri eno nga tebamusuubira nga gye buvuddeko yaliko ku mwalo gw’e Katosi mu ggombolola ya Nnanfumbabi e Ntenjeru mu ssaza ly’e Kyaggwe.

The post Kabaka Alambudde ku B’e Kyotera ne Bafa Essanyu appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page