Essanyu mu ba Ghetto e Mukono-President Museveni Abawadde Obukadde 100

2 minutes, 17 seconds Read

Abavubuka abawangaalira mu bifo ebyakazibwako erya Ghetto mu bifo eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Mukono essanyu balina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okubayiwamu ensimbi obukadde 100.

Dickson Mazinga Ssaalongo nga y’akulembera ebibiina bya Ghetto mu disitulikiti y’e Mukono ategeezezza nti wadde n’abamu ku bavubuka be bakulembera babadde baagala kubajjamu bwesigye nga buli kaseera babasongamu ennwe nga balowooza nti oba oly’awo ensimbi zino zaabaweebwa ne bazikuba ku mimwa, oluvannyuma lwa Pulezidenti okuzibasuubiza mu December w’omwaka oguwedde, kyaddaaki zino baamaze okuzifuna.

Abamu ku bavubuka ba Ghetto ku woofiisi yaabwe e Mukono nga basanyukira ensimbi obukadde 100 Pulezidenti Museveni ze yabawadde.

“Wadde kino abasinga babadde bakibuusabuusa, nkakasa nti ssente zino zaamaze dda okutuuka ku akaawunti zaffe era tuli basanyufu nnyo kati tuteekateeka kuzitemaatema,” Mazinga bw’ategeezezza ng’asinziira ku woofiisi yaabwe eri mu katale ka Kame Valley Market mu kibuga Mukono ku Ssande.

Agambye nti Pulezidenti teyakomye ku nsimbi zino zokka, wabula yabawadde ne pikipiki ssatu nga disitulikiti okulaba nga pikipiki emu bagikozesa ku ntambuza y’emirimu gya woofiisi ate ebbiri zisobole okukola bodaboda omunaavanga ssente eza buli lunaku okubayamba nga bammemba okwebezaawo n’okwekulaakulanya,” bw’agambye.

“Mu Ghetto emirimu gye tusinga okubeera nagyo gya jua kaali, abantu basiika mberenge, abamu bookya byuma, tulinamu ababazzi n’emirimu emirala. Bammemba mu disitulikiti yonna mu SACCO yaffe nga Mukono tuwezaawo abasoba mu 1100, bano tugenda kubawa ensimbi bongere mu mirimu byabwe basobole okwekulaakulanya n’okweggya mu mbeera embi,” bw’annyonnyodde.

Zulaikah Nalwoga amanyiddwa ennyo nga Fatumah mu Ghetto y’e Nassuuti gy’awangaalira yasiimye akulira ‘Crime Intelligence’ Gen. Christopher Ddamulira olw’okubeera olutindo wakati waabwe ng’abavubuka abakasibira mu Ghetto ne gavumenti okutwalira awamu Pulezidenti Museveni.

Dickson Mazinga Ssaalongo (ku ddyo), akulembera ebibiina by’abavubuka ba Ghetto mu disitulikiti y’e Mukono.

“Tuli basanyufu nnyo nti ssente twazifunye. Kati ababadde batusekereranga kye kiseera bibakalire ku matama, Pulezidenti Museveni ffe tuli naawe ebbanga lyonna,” bw’ategeezezza.

Margaret Diana Nalubega ategeezezza nti olw’akasente kano Pulezidenti Museveni k’abayiyeemu, abawonyezza emize omuli okukuba abantu obutayimbwa, okusala ensawo n’okunyakula obusimu kuba kati bagenda kuteeka amaanyi mu kukola nga Gen. Ddamulira, Maj. Emma Kuteesa n’abalala bwe bazzenga babasomesa.

“Pulezidenti Museveni tukugumya nti ffe tuli naawe, era 2026 gyangu weesimbewo, nze akalulu nja kukanoonya mmere n’encaaca,” bw’akakasizza.

Shamira Nyumera nga ye muwandiisi wa Ghetto mu disitulikiti y’e Mukono asiimye RDC w’e Mukono Mike Ssegawa olw’okutambulira awamu nabo ng’aba Ghetto nga tabasuulirira ebbanga lyonna.

Nyumera agambye nti emirundi mingi bwe baddukira ewa Ssegawa nga baliko obuzibu bannaabwe bwe baba batuseeko omuli n’obuba bwetaagisa ensimbi oba nga balwadde, ono abakwatira mu nsawo n’abayamba okutambuza obulamu.

The post Essanyu mu ba Ghetto e Mukono-President Museveni Abawadde Obukadde 100 appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page