Kabaka Alambye Abataka Ab’Obusolya Abaagenda e Namibia Olw’okuwubisa Abantu ku Nnono N’Obuwangwa Bwa Buganda

2 minutes, 30 seconds Read

| MENGO | KYAGGWE TV | Abaganda baagera nti Endiga “Endiga okusulika omutwe, tekigigaana kumanya mbuzi gye ziraze”, olugero luno lutuukira bulungi ku mbeera ebaddewo mu Buganda ebbanga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ly’amaze ng’obuamu bukosefu n’atuuka n’okutwalibwa ebweru w’eggwanga mu mawanga ag’enjawulo okuli n’e Namibia gye yafundikiridde olugendo lw’obujjanjabi.

Kabaka ng’anaatera okukomawo mu nsi ye, ekiwayi ky’abataka b’obusolya nga bano bakulu ba bika eby’enjawulo baavaayo ne babiteekamu engatto ne bagenda e Namibia mbu nga begenze okulaba ku Kabaka n’embeera gye yalimu.

Bano baayogera ebisongovu oluvannyuma lwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga okubasimbira ekkuuli ng’agamba nti tebaalina lukusa kugenda kulaba Kabaka kuba yali ali mu kuwummulamu ng’abasawo bwe baali bamulagidde n’okufuna obujjanjabi.

Bano ebigambo bya Katikkiro byabayita ku mutwe nga mudalizo ne boolekera e Namibira naye gye bitaabagendera bulungi nga baatuuka n’okubakwata ne babasiba ku poliisi y’eyo.

Bwe yavuddeyo okwogerako eri Obuganda, Maaso Moogi, Cuucu, Magulunnyondo yawulugumye n’agamba nti bano Abaganda balina okubeegendereza.

Ebigambo bya Kabaka mu bujjuvu bigenda bwe biti;

“Tuli basanyufu nnyo ddala okutuuka ku lunaku luno kwe tujjukirira n’okujaguza amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogw’amakumi 31.

Twebaza Katonda olw’obulamu bw’atuwadde n’obujjanjabi bwe tufunye okuva mu nsi ez’enjawulo. Twebaza abasawo olw’obujjanjabi at’era nga bakyatujjanjaba. We waawo obulamu bwaffe bweyongedde okutereera, naye olw’embeera n’ebiragiro by’abasawo, tetusobodde kubeegattako nga bwe gubeera bulijjo.

Twebaza omulabirizi w’e Namirembe, Moses Bbanja, ddiini wa Lutikko n’abaweereza bonna abakulembeddemu okusaba kuno.

Ne wankubadde tetubaddeewo nga tuli ebweru mu kujjanjabibwa, ebintu byonna ebibaddewo tubadde tubigoberera bulungi.

Olugero olugamba nt “Enkuba eryokanga neetonnya, ne tulaba ensiisira bwe zenkanya emyoyo”, olugero olwo lutuukiridde.
Bulijjo tubakuutira okwegatta, okukuuma n’okussa ekitiibwa mu nnono n’empisa zaffe. Wano omulabe waayinza okuyita ssinga tugayaalirira ensonga zino.

Embeera gye tuyiseemu mu myezi egiyise eviiriddeko abantu abamu mu butamanya, oba mu bugenderevu, okuvvoola n’okumenya empisa y’ensi, n’okweyisa mu ngeri etesaanidde.

Bakoze ebintu bingi okuwubisa abantu baffe ebikwata ku Nnamulondo n’Obwakabaka. Kino kya bulabe ddala! Abantu abo musaana okubeegenderereza ddala.

N’olw’ensonga eyo, tujjukiza abantu baffe ensonga zino;

  1. Kabaka alina emisoso n’enkola egobererwa ng’atuula ku Nnamulondo era Kabaka talondebwa Bataka Abakulu ab’obusolya. Abataka ab’enkizo bamanyiddwa bulungi, nabo beemanyi era bamanyi n’obuvunaanyizibwa bwabwe.
  2. Kabaka alamula Obwakabaka ng’ayambibwako Katikkiro, ye kennyini gw’aba yeerondedde, era Kabaka taba na musigire.
  3. Mu nnono zaffe, Kabaka alina eddembe okuteekawo oba okudibya empisa ezimu okusinziira ku mulembe nga bwe gubeera.

Twebaza abantu bonna n’okusingira ddala abavubuka baffe, abo bonna abali emitala wa Mayanja, olw’omukwano n’obuwulize eri Nnamulondo. Kisaanidde omukwano ogwo gukuumibwe era gulagibwe nga mulimu empisa n’obutubulamu nga bwe kimanyiddwa okuva edda n’edda.

Twebaza abantu bonna abeetabye mu kusaba kuno era ne tusiima nnyo omulimu ogukoleddwa abateesiteesi. Nsanyuse nnyo okubabuuzaako.”

 

The post Kabaka Alambye Abataka Ab’Obusolya Abaagenda e Namibia Olw’okuwubisa Abantu ku Nnono N’Obuwangwa Bwa Buganda appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page