Ab’e Mukono Basomeseddwa ku Nkozesa Y’emitimbagano Ey’obuvunaanyizibwa

3 minutes, 48 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

| MUKONO | KYAGGWE TV | Abavubuka okuva mu magombolola ag’enjawulo mu disitulikiti y’e Mukono babanguddwa ku nkozesa y’emitimbagano ey’omulembe nga beeyambisa amasimu gaabwe.

Bano abasobye mu 35 basomeseddwa ekibiina ki Unwanted Witness nga bano basabiddwa okwewala ok ukozesa amasimu gaabwe okuvuma n’okuwebuula abakulembeze, okuwemula n’okwetaba mu bikolwa ebirala eby’obumenyi bw’amateeka wabula bagakozese okukola ebibatwala mu maaso. Omusomo guno gwabadde ku Resort Hotel mu kibuga Mukono ku Lwokutaano.

Abamu ku bavubuka abeetabye mu musomo guno.

Munnamawulire era omutandisi w’omukutu gwa Social Media ogumu ku gikyasinze okukwata akati mu disitulikiti ennya okuli eya Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma (Greater Mukono) ogwa Kyaggwe TV ogusangibwa ku YouTube, website (www.kyaggwetv.com), X eyali eyitibwa Twitter ne Facebook, Henry Nsubuga yasomesezza abavubuka bano ku ngeri gye bayinza okufuuka ab’amawulire ab’omubitundu gye babeera (citizen journalists) nga kino kisoboka ssinga beeyambisa bulungi amasimu gaabwe.

Nsubuga yategeezezza nti ssinga bano bakozesa amasimu gaabwe okujjayo ebizibu ebiruma ebitundu byabwe nga babitegeeza be kikwatako nga bayita ku mikutu gi mugatta bantu kwe bali okuli Whatsapp, Facebook, Twitter n’emirala, baakuyamba ebitundu byabwe okufuna obuweereza obw’omulembe okusinga bwe gubadde.

“Bangi tetukozesezza bulungi masimu gaffe, tugabeerako kusasaanya bubaka buvuma, kusasaanya lugambo mpozzi n’abamu batukozesa okutuukiriza ebiluubirirwa by’abalala. Embeera eyo tusigala teri atulabamu mugaso okusinga ssinga tuba tugakozesezza waakiri okunoonya obutale obw’ebyo bye tutunda oba bbizinensi zaffe nga tuyita ku mitimbagano,” bwe yategeezezza n’agattako;

“Bangi tulaba omubaka wa palamenti owa Kawempe North ne tumwegomba ne twerabira nti yalinga ffe bwe tuli wano emyaka nga 10 emabega. Naye olw’okuba yakozesa essimu n’akubanga ku leediyo ng’ateesa n’okwogera ku nsonga ez’enjawulo ezaali mu kitundu kye, n’abantu tebaali babi ne bamulabamu omugaso, okukkakkana nga bamulonze okugenda okubakiikirira ku KCCA nga kkansala w’ekitundu. Okuva awo yagenda mu palamenti era y’abakiikirira, ssinga tebwali bulwadde, yandibadde mubaka wa mugaso nnyo eri abantu b’akiikirira okusinga n’abo abaasoma ennyo oba ababadde mu palamenti okumala emyaka egisoba mu 20.”

Allan Ssempala ng’asomesa.

Mike Ssegawa omumyuka wa RDC wa disitulikiti y’e Mukono eyakwanaganyizza omusomo guno yagambye nti obutafaananako nga bwe guli mu disitulikiti okuli ey’e Wakiso ne Kampala omuli abavubuka abakozesezza obulungi amasimu okwekulaakulanya, bbo ab’e Mukono babadde babulamu mu kumanya okukozesa amasimu obulungi mu ngeri eyinza okubayamba okwekulaakulanya.

Ssegawa yategeezezza nti waliwo obwetaavu bw’amaanyi okulaba nga Bannamukono abavubuka n’abalala okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo basomesebwa ku nkozesa y’amasimu n’emitimbagano ey’obuvunaanyizibwa, egenda okuyamba okutumbula ebitundu byabwe ate nabo okubafunira obutale ku mirimu gye bakola.

Mike Ssegawa, amyuka RDC w’e Mukono eyakwanaganyizza omusomo guno.

“Abamu ku be tuleese wano balina ebizindaalo ku byalo bye bakozesa okubuulira abantu ebiba bifudde mu bitundu, abamu balina bbizinensi ez’enjawulo gamba ng’abakola ku Mobile Money, waliwo omuwala ayokya kasooli, waliwo omuvubuka afuuyira ebiyenje n’ebiwuka ebirala mu maka g’abantu. Tulowooza nti bano mu mirimu egy’enjawulo gye bakola, nga bonna balina amasimu ga lumamyo (Smart phone) ssinga bayiga okuzikozesa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa, baakufuuka banjawulo nnyo era ab’omugaso,” bwe yalambise.

Allan Ssempala Kigozi nga munnamateeka akulira emirimu mu kitongole kya Unwanted Witness yagambye nti omulimu gwe bakola gwa bwannakyewa nga basomesa abantu baabulijjo ku butya bwe bayinza okukozesa amasimu gaabwe mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa.

“Tubasomesezza nti kikyamu era kimenya mateeka okukozesa essimu yo ng’ovvoola abantu, okujweteka ebigambo ku bantu oba abakulembeze era abamu tubalabyeko nga bakwatibwa ne bavunaanibwa n’okusimbibwa mu mbuga z’amateeka. Olwaleero twavaayo okulaba nga tukola omulimu guno okuyamba abavubuka bano baleme kugwa mu mitawaana,” bwe yannyonnyodde.

Ssempala yagambye nti wadde nga buno bwandibadde buvunanyizibwa bwa gavumenti, naye olw’okuba Uganda eri ku lukalu lwa muddugavu (Africa) ng’ensimbi n’ebikozesebwa tebimala, obuvunaanyizibwa gavumenti bw’erina okutuukiriza bungi nga n’obumu bugirema okutuukiriza nga y’ensonga lwaki bbo baasalawo okuvaayo okugikwatiszaako ku buvunaanyizibwa buno.

“Nsaba gavumenti bw’eriba efunye ensimbi ezimala, ng’eyita mu minisitule y’amawulire, etandike okusomesa abantu ku nsonga ng’eno. Gavumenti terina kutuula erinde kukwata abo abakozesezza amasimu n’emitimbagano obubi ne babavunaana, wabula baveeyo babasomese. Ebigambo ebimu biba bya bulabe nnyo eri ebitundu, abantu be ssekinnoomu n’eggwanga. Oba oly’awo biyinza n’okuvaamu entalo,” bwe yannyonnyodde.

Bbo abaasomeseddwa okuli Miriam Nambala ne James Twino baasiimye enteekateeka eno ne bagamba nti ebayambye okuzibuka amaaso.

Bano baategeezezza nti babadde tebakimanyi nti nga bakozesa amasimu gaabwe, basobola okufuuga abantu ab’omugaso okusinga ku bwe babadde mu bitundu byabwe ate n’eri bbo ng’abantu.

 

 

The post Ab’e Mukono Basomeseddwa ku Nkozesa Y’emitimbagano Ey’obuvunaanyizibwa appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page