Amatikkira ga Kabaka: Aba Herona Hospital Bataddewo Emyezi Etaano Egy’okulongoosa ku Bwereere Abalwadde B’amaaso

2 minutes, 49 seconds Read
Kabaka ng’asala akaguwa okuggulawo okulongoosa amaaso ku Herona Hospital mu mwaka gwa 2018, amuddiridde ku ddyo ye Dr. Mukalazi ng’akuba engalo.

Ng’ebula ennaku mbale obwakabaka bwa Buganda butuuke ku lunaku olw’ebyafaayo olwa July 31, Obuganda kwe bujjuukirira amatikkira ga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, Abaganda, Obwakabaka n’ebitongole ebikkiririza mu Buganda biri mu keetereekerero naddala nga Nnyinimu ali ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe alamula.

Mu kkowe eryo, eddwaliro lya Herona Hospital erisangibwa mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe ku kyalo Kisoga mu Ntenjeru-Kisoga tawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono litaddewo olusiisira lw’eby’obulamu mwe bagenda okulongooseza abalwadde abalwadde b’amaaso ekika ky’ensenke ku bwereere.

Okusinziira ku Dr. Henry G. Mukalazi, omutandisi w’eddwaliro lino, obutafaananako na nsiisira za byabulamu ezizze zitegekebwa ezimala olunaku, ennaku oba wiiki, bbo kino bakikoze mu ngeri ya njawulo nnyo ng’olusiisira luno lugenda kutambula okumala emyezi etaano.

Dr. Mulakazi agamba nti oluvannyuma lw’ebbanga nga bayita mu bantu nga babategeeza olusiisira luno, nga July 27, lwe bagenda okutandika okulongoosa abantu mu butongole nga balinawo ennamba ey’okutandikirako.

Omusawo ku Herona Hospital e Kisoga ng’akebera amaaso g’omu ku balwadde b’amaaso.

Ng’addamu ensonga lwaki kino bakikoze bwe bati, Dr. Mukalazi ategeezezza nti Ssaabasajja ng’ennaku z’omwezi October 7, 2018, Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda yaggulawo olusiisira lw’eby’obulamu ku ddwaliro lino olw’okulongoosa amaaso ng’era omulimu guno bazze bagukola wadde nga si ku nteekateeka nga gye bakoze ku mulundi guno.

“Ng’eddwaliro eriri mu Buganda, eriwa abantu ba Kabaka obujjanjabi, ate nga naffe tuli basajja na bakazi Baganda, tulina essanyu lya nsuso okulaba ng’amatikkira ga Kabaka ag’omulundi guno gatuuse nga Kabaka ali ku Nnamulondo ye alamula. N’olw’ekyo eyo y’ensonga lwaki twavuddeyo ng’eddwaliro okulaba nga tuyamba abantu baffe mu ngeri eno,” bwe yategeezezza.

Okusinziira ku malwaliro agaabulijjo, okulongoosa obulwadde bw’ensenke omuntu kuyinza okumutwalako wakati w’akakadde kamu n’akamu ekitundu ez’ensimbi (sh1000,000-1,500,000).

Dr. Mukalazi yagambye nti ekimu ku byabaleetedde okukola kino, kwe kuba nti obulwadde buno obw’ensenke wadde nga bukwata n’abaana n’abavubuka, naye okusingira ddala butawaanya nnyo abakadde ate abatalina nsimbi za bujjanjabi.

Mu mbeera eno, eddwaliro lyataddewo ambyulensi emu kw’ezo ebbiri okunona abamu ku balwadde abagenda okulongoosebwa era bano baasuze bulindaala ku ddwaliro.

Dr. Henry G. Mukalazi owa Herona Hospital e Kisoga.

Abamu ku bano mwe muli Emmanuel Bugingo (74) omutuuze w’e Bunakanda mu Ntenjeru-Kisoga Town Council agambye nti eri ku maaso ge terikyalabira ddala wadde ng’ate abasawo bwe baamukebedde ne bakamutema nti n’eddala nalyo lyakwatiddwa.

Bugingo agamba nti wadde eriiso lino terimuluma, naye teririnaamu wadde akalaba. Ono asanyuse ate olw’eddwaliro okumukolera enteekateeka ne limusindikira ambyulensi emunonye okumutwala mu ddwaliro eggulolimu ku Lwokutaano okusobola okubeera obulindaala nga bagenda okumulongoosa ku Lwomukaaga.

Dr. Mukalazi agambye nti wadde Herona Hospital ddwaliro lya bwannanyini, lifaayo ku mbeera z’abantu abalyettanira okulaba nga babeera balamu ssaako okufuna obujjanjabi obuli ku mutindo nga tebuli na ku buseere nga bwe guli ku gamu ku malwaliro ag’obwannanyini.

Omu ku balwadde eyanoneddwa ambyulensi okuva e Katosi ku mwaliro ng’ono yasuze ku ddwaliro ng’alindiridde okulongoosebwa. Wano ng’alinnya ambyulensi.
Omu ku basawo nga yeekebejja omu ku balwadde, Emmanuel Bugingo nga yaakatuuka ku ddwaliro. Y’omu ku bagenda okulongoosebwa.

 

The post Amatikkira ga Kabaka: Aba Herona Hospital Bataddewo Emyezi Etaano Egy’okulongoosa ku Bwereere Abalwadde B’amaaso appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page