Stirling Ewangudde Kkontulakiti Y’okukola 9.72km Ez’oluguudo e Mukono ku Buwumbi 43

1 minute, 57 seconds Read

Gavumenti etongozza enkola nnamutayiika mw’egenda okuyita okukendeeza ku kalippagano k’ebidduka akakosa abantu mu bitundu omuli Kampala n’emiriraano. Muno mulimu disitulikiti n’ekibuga ky’e Mukono, disitulikiti y’e Wakiso n’e munisipaali y’e Kira, Entebbe n’e Mpigi n’ebirala.

Enteekateeka eno entongozeddwa Minisita omubeezi owa Kampala n’emiriraano, Kyofatogabye Kabuye ng’asinziira ku kitebe kya munisipaali y’e Mukono.

Kyofatogabye agambye nti oluvannyuma lw’okwetegereza ebizibu bya Kampala n’ebitundu ebigiriraanye, baakizuula ng’akalippagano k’ebidduka kali ku mwanjo nnyo kwe kusalawo okukola n’okuggula enguudo ezisinga obungi nga ziyiibwa kkoolansi mu ngeri ekyasinze okuba ey’omulembe.

Gennaro Sirgio Vanni, akulira kkampuni ya Stirling
Civil Engineering Ltd ng’ateeka omukono ku ndagaano emukkiriza okukola oluguudo e Mukono.

Oluguudo olutandikiddwako lw’e lwa Nassuuti-Nakabago-Ntaawo-Bbajjo nga lugatta ku lwa Kigunga-Serado-Kob-Musisi nga kkontulakiti ya luno eweereddwa kkampuni ya Stirling Civil Engineering Ltd.

Minisita Kyofatogabye ategeezezza nti ensimbi obuwumbi 43.79 ze zigenda okusasaanyizibwa ku luguudo luno oluwezaako 9.72km.

Ttawuni kkiraaka w’e Mukono, Francis Byabagambi, yinginiya wa munisipaali Charles Mukasa Ddungu ne kkontulakita be basoose okuteeka omukono ku ndagaano eziwa kkampuni ya Stirling olukusa okukola omulimu guno ng’omukolo guno gubadde mu woofiisi ya ttawuni kkiraaka. Oluvannyuma bagenze ebweru okunnyonnyola abantu ebitukiddwako.

Abamu ku bakozi ba munisipaali n’abakulembeze abaabaddewo.

Akulira kkampuni ya Stirling, Gennaro Sirgio Vanni yeeyamye okukola omulimu obulungi ate mu budde obumuweereddwa obw’omwaka gumu n’ekitundu.

Omubaka wa munisipaali eno mu palamenti, Betty Nambooze Bakireke asiimye gavumenti olw’okujjukira Mukono wabula n’alaga okunyolwa nti olumu bakkontulakita bye beeyama okutuukiriza tebabikola omuli okuteeka amataala ku nguudo, okuzimba emifulejje, okusimba emiti emabbali g’enguudo n’ebirala.

Nambooze era alabudde bakkansala ne bannabyabufuzi abalala mu Mukono okwewala okulinnyanga ku ttulakita nga zikola nga bagenda bwe bawuubira ku bantu nga babalaga nga bwe bakola n’okusolooza obusente okuva ku kkontulakita n’agamba nti kino kikyamu n’abasaba okubeera bakalabaalaba okulaba oba omulimu gukolebwa bulungi oba nedda kye kyokka.

Ye amyuka meeya wa munisipaali y’e Mukono, William Makumbi asekeredde abaali bagamba nti olw’okuba abakulembeze e Mukono bali ku ludda luvuganya gavumenti mbu enguudo n’obutale kye biva bitakolebwa n’agamba nti ebyo kati lufumo Mukono by’efunye n’eby’enaatera okufuna okuva mu nteekateeka eno eya Greater Kampala Metropolitan bingi nnyo.

The post Stirling Ewangudde Kkontulakiti Y’okukola 9.72km Ez’oluguudo e Mukono ku Buwumbi 43 appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page