Muwala wa Ssentebe Bwanika Bamuggye ku Mudaala Gw’abanoonya

0 minutes, 57 seconds Read
Abagole nga bawuubira ku bagenyi baabwe.

Muwala wa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika takyali wa busa, efunye mwana munne amulonze mu bangi.

Ono amukubye empeta wakati mu Lutikko e Namirembe ne yeerayirira okwagala oyo omu obulamu bwe bwonna okutuuka okufa lwe kulibaawukanya.

Jane Diana Namayanja ye yeerondedde mwana munne era kabiitewe Patrick Mawanda era bano kati bali omuntu omu oluvannyuma lw’omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, Jackson Matovu okubakubisa ebirayiro n’abagatta mu bufumbo obutukuvu.

Omulabirizi Matovu bano abakuutidde okunywerera ku biragaano bye bakubye, baleme ate kudda mu kunaayiza wabula bakuumagane ebbanga lyonna ery’obulamu bwabwe.

Mu bubakabwe bw’atisse Minisita wa Kabaka Noah Kiyimba, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga abagole abasabye okufuba okuggya obufumbo ku mitimbagano.

Minisita wa Kabaka Noah Kiyimba ng’akwasa abagole ekirabo.

“Mwewale okutambuliza obufumbo bwammwe ku mitimbagano, era si kirungi kugeraageranya bufumbo kw’obwo bwe mulaba ku mitimbagano oba kw’ebyo abantu bye boogera,” Katikkiro bw’abakuutiridde.

Katikkiro bano era abasabye okubeera n’empuliziganya ennungi mu bufumbo bwabwe, olwo basobole okubeeragana bombi mu ssanyu ekiseera kyonna.

The post Muwala wa Ssentebe Bwanika Bamuggye ku Mudaala Gw’abanoonya appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page