Ssentebe Bwanika Acoomedde Abatwala Eby’obulamu e Wakiso

1 minute, 31 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika acoomedde abakulira eby’obulamu mu disitulikiti eno olw’okulagajjalira ensonga z’eby’obulamu nga bano ebiseera ebisinga babimalira mu zi ‘workshop’ okusinga okukola emirimu egya baweebwa.

Bwanika ategeezezza nti abasawo naddala  abali mu bifo eby’enkizo obudde obusinga babumala mu kulya bikyepere mu zi wooteeri ze babeeramu mu zi ‘workshop’ ng’eby’embi abantu mu malwaliro tebalina basawo babakolako n’abamu ne bafa.

Ssentebe okutuuka okuva mu mbeera abadde ku kitebe kya disitulikiti bw’abadde ne bakulembera banne bwe babadde bakwasibwa emmotoka zi agafa e Mulago ezimanyiddwa ennyo nga zi ambulensi wamu n’emmotoka eyambako okugema mu byalo.

Okusinziira ku bakulembeze, emmotoka eyambako okutambuza ebikola mu kugema n’abasawo egenda okutalaaga disitulikiti nga etuusa obuwerezza omuli okugema abaana, okuyambako abakyala ab’embuto n’obujjanjabi obw’enjawulo ku bwereere.

Ono era asabye palamenti okuvaayo n’eddoboozi erya wamu mu kwongera amaanyi ku nsonga z’eby’obulamu okusinga eggwanga okulowoolezanga mu kuwebwanga obuyambi okuva mu Bazungu n’ebitongole ebigabirizi by’obuyambi.

 

Charles Muhumuza omusomesa w’eby’obulamu ku nsonga z’okugema abantu mu minisitule y’eby’obulamu agamba nti minisitule eno yakizuula nti abantu bangi naddala mu bibuga bakeera kuva waka nga ne bwe kityo tebafuna budde kutwala baana baabwe mu malwaliro kubagema ng’amateeka g’abasawo bwe galambuka.

Emmotoka egenda okutambuza abasawo n’ebikola mu kugema.

Muhumuza agasseeko nti kino kireetawo okutya nti abaana bangi tebafuna bujjanjabi busaanidde nga y’ensonga lwaki minisitule ekola obutaweera obutuusa obuwereza ku bantu gye bawangalira.

Amyuka akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso Dr. Sr. Betty Nabuganda agambye nti emmotoka zino ze bafunye zigenda kubeera nga zirabirirwa minisitule y’eby’obulamu ng’obuwereza bwonna bujja kubeera bwa bwereere.

Ate omubaka wa Pulezidenti e Wakiso, Justine Mbabazi alabudde abakozi ba gavumenti abakozesa obubi emmotoka za gavumenti nga bazikozesa emirimu gyabwe ng’abantu n’agamba nti Katonda gw’avaamu n’abagwa mu ttaano kaakumujjuutuka.

Emirundi mingi ambyulensi zibadde zikwatibwa nga zikukusa ebyamaguzi ebimenya amateeka, omuli n’obwennyanja obuto.

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page