Temukkiriza Baweereza mu Kkanisa Kubeera mu Mbeera Mbi-Bp. Kagodo

2 minutes, 16 seconds Read

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo asoomoozezza Abakulisitaayo okukomya okutunula obutunuzi ng’abaweerezaa mu kkanisa bayita mu mbeera eziteeyagaza.

Bp. Kagodo anokoddeyo ababuulizi abasula mu bifulukwa, ennyumba ezitonnya, abatalina mmere n’abamu ng’eby’okwambala n’okulabirira abantu ba ffamire zaabwe bibatambuza beeyogeza bokka n’agamba nti kino kikyamu nnyo naddala mu mulembe guno.

Global Junior School Ushers Kids into New Year in Style While Unveiling New Campus

“Nze ng’eyasulako mu nnyumba etonnya nga ndi muweereza mu kkanisa mu busumba obumu, sseetaaga kuwulira nti ate ku mulembe guno eriyo Omusumba oba omubuulizi ayita mu mbeera y’emu,” Omulabirizi bw’ategeezezza n’attako nti;

“Temusuubira nti basajja battu ne bakazi battu ababuulizi oba abasumba bagenda kujja gye muli nga babasabiriza eky’okulya oba ssente ez’okubayamba mu mbeera ez’enjawulo. Mmwe mulina okwetuma, Katonda abayambe mukwatibweko mubadduukirire mu ngeri ez’enjwulo.”

Okwogera bino, Bp. Kagodo abadde akulembeddemu omukolo gw’okufulumya ababuulizi abamalirizza emisomo mu ttendekero lya Glover C. Wilcox School of Mission and Evangelism erisangibwa e Nakanyonyi mu busaabadinkoni bw’e Bukoba mu Nakifuma-Naggalama TC mu disitulikiti y’e Mukono.

Ono asabye ab’enganda z’ababuulizi bano n’abasumba ku mitendera egy’enjawulo mu kkanisa okukyuka badde eri Katonda nga basiima olw’okubaggyamu Omuweereza wa Katonda mu kifo ky’okumusibira ekikookolo nga balaga ng’ono eyakoze okusalawo okutali kutuufu.

Omulabirizi Kagodo era atongozza olukiiko lwa bboodi oluggya olugenda okuddukanya emirimu gy’ettendekero lino nga lukulembera Rev. Festo Karungi nga ssentebe waalwo, Rev. Dr. Moses Isabirye, Susan Wamala Sserunkuuma nga ye mukulu w’essomero lya Mukono Boarding P/S, Amos Balongo nga ye mukulu w’essomero lya Nakanyonyi S.S, Fred Katende, Ow’eki: Eva Nagawa ne Dr. Ngoobi Kataate.

Rev. Festo Karungi nga ye ssentebe wa bboodi eno ng’era yaliko omusumba w’e Kisowera mu busaabadinkoni buno obw’e Bukoba akkirizza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa Omulabirizi ne yeeyama nga bwe bagenda okukola baleetewo enjawulo mu ttendekero.

NCDC Develops New ECD Curriculum Ready for Rollout Next Year

Rev. Karungi asuubizza nti amaanyi agenda kugateeka mu kulima naddala ng’agoberera ennima ey’omulembe nga ne bwe baba balimidde wafunda nga basobola okufuna amakungula agawerako.

Rev. Canon Ignatius Kabuuka nga ye Ssaabalabirizi w’e Kangulumira era nga y’asirisizza ababuulizi ara nga y’abuulidde, bano abaanirizza mu kisibo kya Katonda n’abalabula olw’ebikemo ebingi ebibalindiridde.

“Ssebo omulabirizi, ensi erina enteekateeka za njawulo ate nga ziri ‘against the Kingdom of God’ abo nga bw’balaba, ensi ebalindiridde, eyagala kutta enteekateeka zaabwe. Ate ensi erimu abayivu bangi, abamu ku babuulizi bano abafuluma balina ne zi ddiguli, naye mbakuutira, ne bw’onaagenda ku busumba gye bagenda okukutuma ng’Omusumba wa ‘certificate’ tolina kumulaga magezi go mangi, wabula kkiriza Katonda akuwe amagezi aganaakutwala mu bwakabaka bwe Obw’omuggulu,” Canon Kabuuka bw’ategeezezza.

 

 

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page