Bannakibiina kya NUP Bawanze Omuliro mu Kusabira Frank Ssenteza

2 minutes, 28 seconds Read

Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) leero basabidde omwoyo gwa Frank Ssenteza ng’ono ye yali omukuumi w’omukulembeze w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine agambibwa okutomerwa emmotoka y’amagye n’emutta mu kkampeyini z’obwa pulezidenti mu mwaka gwa 2020.

Frank ssenteza yafiira Busega nga 27/12/2020 kkonvooyi ya Kyagulanyi bwe yali eva mu bitundu by’e Masaka okuwenja akalulu. Wabula ne gye buli eno, Bannakibiina kya NUP bakyalumiriza ab’ebyokwerinda nti be baatomera Ssenteza  ate mu bugenderevu.

Frank Ssenteza nga bwe yali afaanana.

Emmisa y’okusabira omwoyo gwa Frank Ssenteza ebadde mu maka ga bazadde be ku kyalo Kirowooza mu Masaka City. Mu ngeri y’emu wabaddewo n’okutongoza oluguudo olwatuumiddwa Frank Ssenteza aba divizoni ya Nyendo-Mukungwe nga bakulirwa Meeya Mulindwa Nakumusana.

Ng’emmisa egenda mu maaso, ate wabaddewo embeera etali ya butebekenvu abavubuka ba NUP bwe balumbye poliisi eyayiiriddwa ku kubo lino nga bagirumiriza okusalawo akapande akaatumiddwa Frank ssenteza road.

Wabula bano poliisi ebategeezezza nti olukusa baafuna lwa kusabira mugenzi wabula si kutongoza luguudo.

Abatuuze nga bagasimbaganye n’abapoliisi abagambibwa okusalawo ekipande ky’oluguudo olubbuddwamu Ssentenza Frank.

Ng’ayigiriza mu mmisa, Rev Fr Vincent Lusembo asabye abavubuka okukozesa emirembe mu buli kimu nga bwe bajja okuwangula.

Omukulembeze w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ayogedde amannya g’oyo eyakuliramu abaserikale abatomera Frank wamu n’ennamba y’emmotoka wabula n’alaga okunyolwa nti bano ne gye buli eno balya butaala tebavunaanibwanga ate nga bannakibiina kino abakwatibwa olw’ensonga z’eby’obufuzi nga tebazizza wadde omusango bbo bavundira mu makomera.

Abamu ku bakulembeze ba NUP abeetabye mu mmisa y’okujjukira omwoyo gwa Frank Ssenteza.

Kyagulanyi agasseeko nti poliisi okusalawo akapande k’oluguudo kikolwa ekiraga nti na buli Kati Frank Ssenteza akyali ku mulimu gwe kuba wadde yatomerwa mu bugenderevu n’attibwa mu bulumi obw’ekitalo, n’emagombe gye yagenda bakyamulwanyisizaayo.

Ono asabye omumyukawe mu Buganda Owek. Mathias Mpuuga gwe yakyusizza okuva ku kifo ky’okukulira oludda oluvuganya mu palamenti kwongera obuweereza ng’omumyukawe ng’ajjamu empulunguse ezeerimbise mu kibiina kyabwe.

Owek. Mpuuga aleese ekiteeso nti ekkubo lya ‘Ssenteza Road’ kyetaaga na kuyiibwa kkoolansi ng’akabonero okujjukira emirimu gy’omugenzi emirungi gye yakolera nnyaffe Uganda wadde ng’abatamanya ngamba baaamumizaa omusu ku myaka emito ddala.

Mpuuga agumizza Bannayuganda nti ‘Okalya dda kadda dda’ nga ne bwe buliba ddi, abo abazze bakola ebikolobero ku bannansi bajja kuvunaanibwa, gibakke mu vvi era bakole ebibonerezo.

Ow’ek: Mathias Mpuuga.

Ono nga ye Mubaka wa Nyendo-Mukungwe asabye akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti eyamuddidde mu bigere Joel Ssenyonyi okwongereza kwebyo by’alese atandiseewo omuli okufuna obwenkanya ku nfa ya Frank Ssenteza n’abantu abalala wamu ne Bannayuganda abalala abaabuzibwawo nga ne gye buli eno tebakubikako kimunye.

Bbo bazadde ba Ssenteza basiimye aba NUP obutabeerabira era ne beeyama okubongera abaana abalala baweereze eggwaanga lyabwe.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page