Abakristu mu Ssaza ly’e Lugazi Balamaze mu Bungi e Bulimu

3 minutes, 3 seconds Read

Buli mwaka nga November 12, lwe lunaku omu ku Bajulizi ba Uganda, Ponsiano Ngondwe lwe yattibwa ng’era Abakristu okuva mu ssaza lya Klezia ery’e Lugazi lwe balamaga ku kiggwa ky’omujulizi ono e Bulimu.

Essaza ly’e Lugazi likolebwa disitulikiti nnya okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma ng’Abakristu okuva mu bitundu eby’enjawulo eby’essaza beeyiye mu bungi e Bulimu okulamaga.

Omusumba wa Klezia atwala essaza lino, Bp. Christopher Kakooza ye yakulembeddemu ekitambiro kya mmisa ng’ayambibwako omusumba omuwummuze, Bp. Mathias Ssekamanya n’omubeeziwe Msgr. Richard Kayondo.

Bp. Kakooza ng’akulembeddemu mmisa ey’okulamaga ku kiggwa ky’omujulizi Ponsiano Ngondwe e Bulimu.

Bulimu kisangibwa mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono. Ng’ayigiriza, Bp. Kakooza yawadde ebyafaayo by’omujulizi Ngondwe nga yategeezazza yazaalibwa ku kyalo kino Bulimu n’agendaa mu Lubiri okuweereza Kabaka ng’eno Abaminsani abaleeta eddiini gye baamusanga ne banne ne baboogereza naye n’akkiriza okuyingira eddiini n’abatizibwa n’annyikira eddiini n’okutuuka ku ssa ery’okugifiirira.

Abamu ku balamazi abeetabye mu kulamaga e Bulimu.

Yategeezezza nti ye Ponsiano Ngondwe ye muwolereza w’essaza ly’e Lugazi. Bp. Kakooza yagambye nti abatta Ponsiano Ngondwe nga bamulanga ogw’obusomi baamuttira Takajjunge ekisangibwa e Munyonyo mu ssaza ekkuli ery’e Kampala n’era nga November 12 lwe lunaku lwe yattibwako nga baamutta bamusala bifi ku kifi ku mubiri gwe okutuusa lwe yafa naye nga teyeegaana ddiini na Yezu Kristu wakati mu bulumi bwe yafiiramu.

Bp. Kakooza ng’afuna ebirabo okuva mu bayizi mu mmisa ey’okulamaga e Bulimu.

Yakunze Abakristu bulijjo okwegayirira Katonda nga bayita mu mujulizi Ngondwe nga Katonda tajja kugaana kuwulira na kuddamu kusaba kwabwe.

Msgr. Kayondo yalangiridde n’agamba nti essaza ly’e Lugazi lyalondebwa ng’omwaka 2025 lye linaakulemberamu enteekateeka zonna ez’okulamaga ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo.

Abamu kubayimbi abaakulembeddemu mmisa.

“Olw’okuba okulamaga e Namugongo si mulimu mwangu naddala eri abateesiteesi, twatandise dda okweteekateeka, era n’ensimbi kye kiseera omulimu ogwo okugutandikako n’amaanyi. Tulina okulaga abaliramaga nti ddala ffe b’e Lugazi abatawunyikamu,” bwe yategeezezza.

Kayondo era yakunze Abakristu mu ssaza ly’e Lugazi n’wberu waalyo okuwagira enteekateeka ez’okukuza emyaka 100 egya Nyenga Seminary, ebikujjuko bino bibindabinda.

Abamu ku bayizimbi mu kifaananyi eky’awamu n’omusumba Kakooza , Ssekamanya ne baffaaza abalala abeetabye mu mmisa.

Yategeezezza nti abateekateeka emikolo baategese omukolo mwe baasondedde ensimbi e Kampala ng’era mu nteetateeka eyo, bateeseteese ekijjulo eky’okusonderako ensimbi ku Colline Hotel e Mukono nga November 17 olw’eggulo.

“Ab’e Kampala bwe baba baawagidde, ng’ate mukimanyi bulungi nti “Nyini mufu…” kati banaawulira batya nti ate ng’e Kampala byatambudde bulungi, ate eby’e Lugazi byagaanye. Mujje muwagire mu bungi,” bwe yakkaatirizza.

Ng’ayogera, Omusumba Ssekamanya yasiimye Bp. Kakooza yasabye Abakristu okwongera okuweereza abaana mu sseminaaliyo basome bafuuke abafaaza.

Ono era yasabye abazadde okwongera okufaayo eri abaana n’enkuza n’endabirira yaabwe ssaako okubasomesa mu masomero n’eddiini.

“Kyannaku nti abazadde bangi ennaku zino tebafuna masaakalamentu, ate ng’abaana ku baadde kwe balabira. Nsaba abazadde tuettanire okumanya Katonda n’okufuna amasaakalamentu

Okulamaga kwakulembeddwamu ddinale y’e Namilyango ng’abayimbi okuva mu kigo kya St. Charles Lwanga Bukeerere be bakulembedde eby’entendereza.

Abayizi ba St. Theresa Namilyango Girls Boarding Primary School mu kifaananyi eky’awamu n’abasumba, Christopher Kakooza ne Mathias Ssekamanya omuwummuze.
Omwana ng’atona mu mmisa, Bp. Kakooza ng’afuna ekirabo kye.
Abayimbi abasajja aba St. Charles Lwanga Bukeerere abeetabye mu kuyimba mmisa eno.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

You cannot copy content of this page